Ekikangabwa kigudde mu Muswangali zooni ku Salama Road omwana Omulongo bwakakkanye ku nnyina Nnalongo n'amusala obulago ng'embuzi.
Kato yagambibwa okusala nnyina obulago n'amutta oluvannyuma lw'okumukanda ssente z'okunywa omwenge n'azimumma.
Simon Kikungwe omu ku batuuze mu kitundu kino ategeezezza nti ekikangabwa kino kiguddewo Ku ssaawa 4:00 ez'enkya.
Kikungwe agambye nti Kato aludde ng'atulugunnya nnyina ono okutuusa lw'amusse.