Bya Abdul Muwonge ENTAMBULA esannyaladde ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka aba bboodabbooda bwe baggadde oluguudo okumala ekiseera oluvannyuma lwa lukululana okutomera bannaabwe babiri omu n'afa nga balinda poliisi okumutwala mu ddwaaliro. Akabenje kano kagudde mu ttaawo lye Kyengera mu kitoogo kya Lubigi.
Kino kiggye aba bboodabbooda mu mbeera ne basitula omulambo ne baggusa mu luguudo wakati ekintu ekisannyalazza ebyentambula mu kitundu kino era nga kino kitutte essaawa eziwerera ddala nnya nga poliisi tennaba kutuuka.
Oluvannyuma bapondoose ne bajja omulambo mu luguudo nga mu kiseera kino ne poliisi weetuukidde ng'eno abantu bwe bagiwereekereza ebisongovu. Abaserikale basanze akaseera akazibu okuggyayo bboodabbooda ebadde ewagamidde wansi mu mipiira gya lukululana.
Omulambo gutwaliddwa mu ddwaaliro e Mulago. Aba bboodabbooda balangidde poliisi obutabafaako nga bafunye obuzibu kyokka bwe gutuuka mu biseera bya kafiyu baanguwa obubakwata.