Monday, November 2, 2020

Maama wa Bro Ronnie ayambalidde Omusumba Ssennyonga

NNAMWANDU Jane Makabai, maama w'Omusumba Brother Ronnie Makabai ow'Ekkanisa ya ETM ayambalidde omusumba Jackson Senyonga owa Christian Life Church n'amulangira okuba n'empalana etakoma.

Yategeezezza nti empalana ya Senyonga etakoma gy'asssa ku buli muntu ye yavuddeko n'okulumba omulambo gw'Omusumba Augustine Yiga eyaziikiddwa eggulo.

Nnamwandu Makabai yategeezezza bannamawulire abaamusisinkanye e Makindye ku Lwokutaano nti bba bwe yafa mu 2017, pasita Senyonga aliko abaana b'omugenzi be yakwatako ne batandika okumuyigganya nga baagala okumugoba mu maka ge.

"Nze Senyonga simutenda kubanga olutalo lwe yaggula ku mwana wange Bro. Ronnie, nange yalungattamu n'antabulira abaana b'omwami wange be nakuza era abaali banjagala ennyo," Nnamwandu bwe yategeezezza.

Yasabye mutabani w'Omugenzi Yiga, Andrew Jjengo obutagezaako kwesembereza Senyonga kubanga gye binaggweera nga ffamire yonna agitabudde. Nnamwandu yabadde ayogera ku kya Senyonga okuyita abaffamire ya Yiga abalina obwetaavu obw'engeri ezitali zimu abayambeko.

Ye Bro. Ronnie Makabai bwe yagenze ku kkanisa ya Yiga okubakubagiza yagambye nti ssinga Katonda gw'asinza si mulamu, Senyonga yandibadde yamuwangula dda olw'olutalo lwe yamuggulako kati oluli mu myaka etaano.

Yakkaatirizza ekya nnyina n'agamba nti okuva Ssenyonga lwe yayingirira famire yaabwe, yagicankalanya era ne nnyina naafuna obulwadde bw'entununsi era babeera mu kusaba buli kadde.

Bro. Ronnie yeeyamye okukwasizaako Omusumba Jjengo asobole okutwala obuweereza bwa kitaawe mu maaso. Yakubirizza basumba banne okuva mu nnyombo beemalire ku buweereza obwabakwasibwa mukama waabwe.

Ku kwanukula abaamulumba, Pasita Senyonga yabalingidde nkwe na kweyisaako na bunnanfuusi kuba bonna babadde bamanyi ebikolwa bya Yiga ebikyamu naye kati beefudde abamwagala ennyo. Senyonga agamba akyagenda mu maaso n'okwogera amazima awatali kumutiisatiisa.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts