Monday, November 2, 2020

Ababadde ku lusegere lwa Yiga bye baayogedde

OMUKYALA Kelisha Twinomugisha abadde ennyo ku lusegere lwa Pasita Augustine Yiga ‘Abizzaayo', yamutenderezza olw'okunyweza emikwano nga tafaayo ne bwe bamwogerera.

Kelisha wano we yasinzidde okwebaza omusawo, Josephine Nalubega ow'e Nsambya ajjanjabye Yiga. Yagambye nti yasisinkana Yiga mu 2006 ng'akyali mu kkanisa ya biwempe awo n'amubulako ne baddamu okusisinkana mu 2013 okutuuka lw'afudde.

Abantu nga bawaniridde Twinomugisha okugenda emagombe.

Yagambye nti obulwadde obwasse Yiga bwatandikira South Africa gye yasooka okulwalira sukaali n'endwadde endala. Yagasseeko nti w'afiiridde abadde yaakakola ekiraamo kye nga August 26. 2020 ekyasomeddwaako ekitundu ng'ekkanisa agirekedde mutabani we Andrew Jengo akulembere basumba banne.

Nabbi omukazi, Maggie Kayima y'omu ku bakyala ba Yiga abaayogedde nga bwe batalyerabira musumba oyo mu bulamu bwabwe olw'omukwano omungi gwe baalina. Yagasseeko nti yalemwa n'okufuna omusajja amwenkana.

Abaami abaayogedde kwabaddeko Pasita Joseph Ssenyonjo ne Nabbi Bob ow'e Bulenga abaatenderezza Yiga bw'abadde omuyiiya ate ayagala Katonda ne bavumirira omusumba Jackson Ssenyonga eyayogeredde Yiga ebikankana.

Maama wa Jjengo (ku kkono) ng'akaaba.

Mu kusabira omwoyo gwa Yiga okwakulembeddwa Pasita Fred Sserugo, minisita omubeezi ew'ebyobulambuzi, Godfrey Kiwanda yatendereza emirimu gya Yiga omuli okuzimba essinzizo ery'amaanyi n'ategeeza nti eky'omuwendo gw'abatuula mu masinzizo bakiteesaako okugwongeza. Pasita Jengo ng'akaaba. Omukyala ng'ayaziirana mu kuziika.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts