BYA WASSWA B. SSENTONGO
Abatuuze ku kyalo Ssanga mu ggombolola y'e Gombe mu disitulikiti y'e Wakiso baguddemu ekyakango bwe basanze mutuuze munnaabwe ng'attiddwa mu bukambwe oluvannyuma lw'okumusobyako.
Eyattiddwa ye Rashidah Nakato Nakalyoowa 22, ng'abadde mutuuze w'e Bugulube Ssanga. Nakato baasoose kumusobyako oluvannyuma ne bamutuga omulambo gwe ne bagusuula ku kkubo.
Nakalyoowa okuttibwa yabadde ava mu lumbe ewa nnyazaala we e Kyaggwe nga yabadde yaakatuuka awaka ne wabaawo abamukubira essimu kyokka bwagenze okukya ng'attiddwa.
Kkansala akiikirira abavubuka b'e Ssanga, Kennedy Kayongo asabye poliisi okunoonyereza abasse omuwala ono era n'avumirira ekikolwa kino.