Nnyabo ofaayo bwe nkubuuzaako katono?
Tewali buzibu kasita okozesa eddakiika ttaano zokka.
Ku gwe ne Winnie Nywagi ani afaanana munne?
Leeka ate naawe tongeza ku Nwagi nze ndi wa njawulo nnyo ku ye.
Nkulaba kati mu njogerayo olinga agamba omwepikira!
Akabuuza ggyako .
Sshaaa.. mbu olwo kiki ky'omusinza?
Okujjako okuba omuyimbi naye Nwagi talina kyansinza. Si bulungi,ffiga oba kunyirira byonna ndaba wa bigere ku nze ate nga nkyali muto ku ye.
Oba tomwagala bwagazi !
Ekyewuunyisa wadde gwe obinoonyaamu naye simulinaako buzibu era n'ennyimba ze zinnyumira .
Biki ebisinga okunyiiza ku Nwagi!?
Bwanaalekera okukunama nja kuba simulinaako wadde ekinyiiza ku ye .
Naye maama gwe eyeepikira Nwagi biki by'olya ebikunyiriza bityo.
Nsiga kwettanira bibala ne 'chocolate'.
Omusajja wo akugamba kiki ekisinga okumukuba mu mubiri gwo?
Ekyo ndaba tekirina kye kitugattako.
Kale mbuulirako mu kaama.
Ekiseera sikyakwogera ku basajja naye ky'oba omanya nze ndi ‘full package' buli kimu ku nze nkyewulira.
Nze bampita Patrick ofaayo bwemanya ku linnya lyo omulungi?
Haaahaaa weebale kumbatiza lya mulungi naye nga nze Olivia Kwagala.
Olwo bwemba sikusanze wano w'oliira ka ice cream obeera wa?
Mbeera Buziga.
Bwemba njagadde okujja tunyumyemu mu biseera byo eby'eddembe osinga kubimala wa?
Mbeera bbize ku mirimu gyange sitera kufuna budde bwa mboozi okugyako obutono bwenfuna mbeera mu kuwuga kuba kumpummuza ebirowoozo.