
Minista omubeezi avunaanyizibwa ku by'obujjanjabi ebisookerwako , Dr. Joyce Moriku Kaducu akakasiza nga omubaka owa munisipaali y'e Kamuli Hajati Rehema Watongola bw'afudde ekirwadde kya Covid 19.
Kaducu agambye nti omugenzi ennaku eziyise abadde yaweebwa ekitanda mu ddwaaliro e Mulago awajjanjabirwa abayi (ICU) gy'abadde alwanaganira n'ekimbe kino era ng' olwaleero lwasizza omukka ogwenkomerero.
Kaducu ayongedde okulabula Bannayuganda naddala bannabyabufuzi abeefude bannampulirazibi ku kirwadde kya corona nga balemedde kukuba enkungaana ezeetabwamu abantu abangi nti boolekedde okusaasaanya ekirwadde kino .
Kigambibwa nti omugenzi Watongola yafiirwa mwannyina wiiki ewedde era eby'okuziika tebyagoberera mateeka g'ebyobulamu ku bantu ababa bafudde obulwadde bwa Covid.