Monday, November 9, 2020

Zari yeegaanyi eby'okuddamu okugwa mu mukwano n'omuyimbi Diamond Platinumz

Zari yeegaanyi eby'okuddamu okugwa mu mukwano n'omuyimbi Diamond Platinumz

Zari Hassani omu ku bakazi abamanyiddwa okulya obulamu n'okunyumirwa eby'eswagga mu kiseera kino ali mu ggwanga lya Tanzania. Eno yalabiddwaako mu bifo eby'enjawulo ng'ali n'eyali bba Diamond wamu n'abaana baabwe ababiri banyumirwa bulamu.
Zari ne Diamond wadde baayawukana, baayambadde bifaanagana.
Bano waliwo n'ebifaananyi ebyabakubiddwa nga bonna bambadde engoye ezifaanagana ebyogezza abantu ebikankana abamu ne batuuka n'okubitambuza nti ababiri bano abaayawukana oluvannyuma lw'okufuna obutakkaanya ne beerangira n'ebisongovu bandiba nga badding'anye.
Kyokka Zari ng'ayogerako ne bannamawulire mu Tanzania abaamubuuzizza ku nsonga eno n'ekyamututteyo, yabategeezezza nti yatutte baana kulaba ku Taata waabwe kubanga bamaze ebbanga ddene nga tebamulabako ate nga bamumubuuza.
Eby'okuddamu laavu yaabwe abiwakannyiza bw'agambye nti Diamond alina omuntu we era ye Zari naye amanyi w'akoma nga maama n'abaana.
Oluvannyuma lw'ababiri bano okwawuukana Zari yasalawo okugenda n'abaana abeere nabo e South  Africa. 

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts