HAJJI Abdul Kiyimba, mmeeya wa Kyengera Town Council ayogedde ku butakkaanya bwe yalina ne Sheikh Nuhu Muzaata obwavaako Kiyimba okuweebwa ekitanda n'amala mu ddwaaliro wiiki bbiri.
Kyokka yagambye nti Muzaata w'afiiridde nga baatabagana era gye buvuddeko Kiyimba yalina omukono n'ayita Muzaata ng'omugenyi omukulu.
Entikko y'obutakkaanya bwa Muzaata ne Kiyimba yaliwo mu kusaalira Sheikh Hassan Kirya eyattibwa. Omukolo gwaliko Gen. Kale Kayihura.
Muzaata bwe yakwata omuzindaalo yalagira Kiyimba okuyimirira nga bw'amwolekeza
ebigambo ebimulengezza n'okumuswaza; Muzaata yagamba Kiyimba: Nneewuunya
omuntu gwe nnawonya okutemwako emikono ng'abbye engatto ku muzikiti e Nakasero, nga kati ggwe obonyaanyabonya abantu.
Wano Muzaata we yabuuliza Kayihura akakase abantu eddaala n'obuvunaanyizibwa bwa Kiyimba.
Olwo Asuman Mugyenyi eyali akulira ebikwekweto mu poliisi n'akwata Kiyimba ku
mukono n'amuyingiza kabangali ya poliisi n'amuggyawo.
Kiyimba gwe twasanze mu ofiisi ye e Kyengera yategeezezza nti oluvannyuma lw'ebyaliwo e Kibuli yasisinkana Muzaata ne batuuka ku kukkaanya.
Ebyali e Kibuli, Kiyimba yagambye nti byamuyisa bubi nnyo n'aweebwa ekitanda.
Ate buli kiseera naddala bwe yafunanga otulo ng'ekifaananyi kya Muzaata kimujjira
n'awawamuka.
"Allah agamba nti omuntu bw'ategeera ensobi ye n'agyenenyeza oyo gwe yasobya
asaana okusonyiyibwa. Twatabagana emyaka ena emabega ne Muzaata. Okuva olwo
omukwano gwaffe gwaddawo. Siddangamu kuwulira bigambo bikaawu kuva mu kamwa ke," Kiyimba bwe yategeezezza.
Kiyimba yagambye: Muzaata annumye. Nzijukira jjuuzi ng'ankubira essimu nga yaakava okuziika Sheikh Annas Kaliisa e Ntungamo.
Yansaba musisinkane mu maka ge e Kawempe. Twayogera bingi na kati binnyungula
amaziga.
"Nzijukira bwe twali mu Amerika ne tufuna amawulire g'okukwatibwa kwa Kayihura ne Abdallah Kitatta, olwo Muzaata n'ansaba nneme kudda mangu ng'alowooza nti nange bajja kunkwata. Kino kyandaga nti tuli baaluganda. Atali munno takulabula,"
bwe yagambye.
N'asaba Supreme Mufti Sheikh Kasule Ndirangwa okuyingira mu nsonga zonna ezitandise okutabula ffamire ya Muzaata.
Okukwatagana ne Muzaata, Kiyimba agamba nti bwe yali yaakava e Mecca okulamaga, n'asisinkana Muzaata ku muzikiti e Nakasero.
Era Muzaata agenda okufuuka Imaam w'omuzikiti gwa Kalittunsi e Katwe nga bassa kimu.
Thursday, December 10, 2020
Hajji Kiyimba ayogedde Muzaata bye yamuyisaamu
Popular Posts
-
HERBERT Twine (wakati) eyakuyimbira ennyimba nga 'Saabisaanira, Sibyakyama, Ompangudde ne Siryerabira ...
-
Police in Mubende district have launched a manhunt for Khalisiti Mutatina, who is accused of stabbing to death his wife's lover, Ignitio...
-
EGGWANGA we libeeredde mu muggalo, abantu babadde ku mudido gwa bibbala ng'omwav...
-
EMBEERA y'akabuga Lukaya ku luguudo lwa Kampala-Masaka ekyali ya kimpoowoze okuva omuggalo gwa Corona...
-
For over the past year, Dfcu bank has received criticism for being reluctant with data security after leakage of vital information like bank...
-
Scientists are putting an herbal remedy from Madagascar, purported to cure COVID-19, to the test. Researchers at Germany's Max Planck ...
-
In many homes around Jebel Boma county, dinner consists of bitter-tasting leaves that can be picked off the bushes outside. The leaves are...
-
HAJJI Abdul Kiyimba, mmeeya wa Kyengera Town Council ayogedde ku butakkaanya bwe yal...