Monday, January 11, 2021

Emmaali etabudde ffamire y'omugagga wa Tuweereza

Emmaali etabudde ffamire y'omugagga wa Tuweereza

ByaPATRICK TUMWESIGYE ne VIVIEN NAKITENDE

BAMULEKWA n'abamu ku bannamwandu b'eyali omugagga w'emigaati gya Tuweereza, Angelo Kasirye basabye aboobuyinza mu ofiisi ez'enjawulo n'abaali mikwano gye okuyingira mu nsonga za ffamire babataase ku nnamwandu gwe balumiriza okukola olukujjukujju okwezza ebyobugagga by'omugenzi.

Tuweereza.

Abaana ne bannamwandu mu gamu ku maka g'omugenzi e Kabuusu, baategeezezza nti okuva kitaabwe lwe yafa mu November wa 2020, nnamwandu Edith Nansamba yeekomya ebyobugagga ebisinga n'akyusa n'ebiwandiiko mu ngeri eyeewuunyisa.

Rogers Ken Ssekajja Kasirye nga ye musika yategeezezza nti, kitaabwe okufa yaleka ebyobugagga bingi okuli zi faamu, kkampuni, amayumba g'abapangisa, ebyapa by'ettaka n'ebirala naye ekyewuunyisa namwandu yabyefunza nga takkiriza muntu yenna kubiyingiramu.

Bannamwandu ow'e Lubowa n'ow'e Kabuusu nga beegeyaamu.

Ssekajja ayongera nti bo ng'abaana abalala, batandise okubuusabuusa obutuufu bw'ekiraamo oluvannyuma lw'omu ku bakulu b'ekika, Kyaddondo Mbuga Eramula eyasoma ekiraamo kya kitaawe mu lumbe kyokka n'agaana okubawaako kkopi naddala ye ng'omusika ate ng'abaana abasinga bakulu.

Nnamwandu Nansamba gwe balumiriza okwezza ebintu by'omugenzi.

Prossy Nalunga omu ku bamulekwa yategeezezza nti oluvannyuma lwa muka kitaabwe ono embeera gye yali yeeyisaamu, okuviira ddala ku kitaabwe nga mulwadde nga tabakkiriza kumulabako, baasalawo okugenda mu ofiisi ekola ku nsonga z'abafu balabe ekyaliyo bagenda okutuukayo, nga muka kitaabwe yaggulawo fayiro ya kitaabwe ng'aluubirira kufuna buyinza okuddukanya eby'obugagga ng'aba ffamire abalala tebamanyi.

Kino kyabeewuunyisa ne bakola okunoonyereza okulala ne bongera okuzuula nti ne kkampuni ya kitaabwe eya Tuweereza Bakery yakyusibwa emigabo ne bateekamu abaana abato abatanneetuuka n'abalala nga bali mitalawamayanja kyokka ne babalaga nti bassaako emikono.

Amaka g'omugenzi Tuweereza.

Ate ye namwandu ne yeewa emigabo kyokka bajja be abalala be yali amanyi obulungi ne batafunako. Ekisinga okubeewuunyisa kwe kuba ng'olunaku omuwandiisi w'amakampuni lwe yassaako omukono olwa November 4, kitaabwe Kasirye yali mufu ng'ali mu ddiiro ne beewuunya obuvumu muka kitaabwe bwe yakozesa okuleka omulambo gwa bba mu ddiiro okukola ku nsonga zino.

Mu ngeri yeemu, abaana era beemulugunya ku ngeri kitaabwe gye yamala ennaku ssatu ng'afudde kyokka nga tebannamubika kubanga yafa nga November 1, kyokka bo ne bategeera nga November 4. Florence Kasirye omu ku baamulekwa yategeezezza nti baagala okukebera endagabutonde abaana ba kitaabwe bonna basobole okwawulamu abatuufu kubanga mulimu abamu be bateekakasa.

Gorret Nabuuma, nnamwandu omukulu naye yeewuunya ebikolwa by'omugenzi okumubawa nga kirabika yali amaze ennaku ng'afudde. Madinah Nabakooza nga naye Namwandu agamba nti okuva bba lwe yalwala, muggyawe teyabakkirizanga kugenda kumulabako gye yali alwalidde ng'embeera ye baagimanyira mu bantu balala.

Namwandu ono ayongerako nti ekisinga okumuluma kwe kulaba nga muggyawe tayagala kwogera naye so nga ye n'abaana be balina omugabo mu bintu by'omugenzi era n'asaba wabeerewo okuteeseganya. Edith Nansamba Tuweereza twayogerako naye gye buvuddeko ku nkaayana zino n'agamba nti; Mmaze n'omugenzi Tuweereza emyaka egisukka mu 25, nga tuddukanya bizinensi ez'enjawulo, nange ng'omuntu ebintu ebimu kuliko ssente ezange.

Omugenzi yalekawo eddaame era lye tugoberera, teyagaba bintu bye, yaleka alonze akakiiko akanaddukanya eby'obugagga bwe, yanteeka ku kakiiko ako nga nze nkakulira kuba nze mukyala we ow'empeta era abadde addukanya bizinensi n'anteekawo okukulira akakiiko akaddukanya eby'obugagga bye era akakiiko kano be bagenda okuvunaanyizibwa ku bintu by'omugenzi (administrators). Abo abakyala aboogera ekyo si kipya.

Oyo mukyala mukulu ow'e Lubowa ye bw'atyo, buli kiseera ebintu bye bya ntalo, ayombayomba n'omugenzi ne bwe yali nga mulamu era nga muyombi nga ffe twamwesonyiwa. 

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts