Thursday, November 5, 2020

Ebbula ly'ebibala bwe likosa olutalo lw'okulwanyisa ssennyiga omukambwe

Ebbula ly'ebibala bwe likosa olutalo lw'okulwanyisa ssennyiga omukambwe

EGGWANGA we libeeredde mu muggalo, abantu babadde ku mudido gwa bibbala ng'omwavu n'omugagga asobola okubyetuusaako. Emiyembe, obutunda, mangada, enniimu n'ebibala ebirala abakugu mu byobulamu bye batugamba nti bizimba obusobozi bw'omubiri okulwanyisa endwadde bibadde mu bungi.

Wabula gavumenti olwaggudde ensalo ate ebbeeyi y'ebibala n'epaaluuka era mu kiseera kino bya buseere. Julius Lule: Musuubuzi wa butunda mu katale k' e Nakasero: Agamba nti mu kiseera kino ensawo y'obutunda ya 800,000/- ate obutunda buna bwa 1,000/-.

Naye mu March nga corona yaakatandika, ensawo y'obutunda Obuganda yali ya 400,000/- ate ng'obutunda musanvu ku 10 bwa 1,000/- Obutunda mawanga magatte obunene, ensawo ya 700,000/- tutunda bubiri 1,000/- ate kiro ya 6,000/- Moses Lubwama atunda miyembe mu katale k'e Nakasero; Mu kiseera kino emiyembe gye tusinga okutunda giva Kenya kubanga egyaffe sizoni yaggwaako. Emiyembe egiva e Kenya gya bbeeyi kkiro 55 ku 60 tuzigula 400,000/-.

Bwe gituuka wano ffe abatatundira mu kkiro, omuyembe gumu tugutunda wakati wa 2,000/- 3,000/-. Omulengo guva ku ssente 5,000- ne 10,000/-. Ebookisi y'emiyembe egya wano ewaffe ya 45,000/- ate gibeeramu mitono.

AKATALE E SOUTH SUDAN                                                                                                                                                                                   Juliet Namukasa okuva mu kibiina kya Namayiba Fresh Fruit Association, asuubula wootameroni okuzitwala e Sudan. Wootameroni emu okuva wano okutuuka e Sudan emalawo 12,000/-, be tuguza be basalawo ebbeeyi gye batunda. Shaban Nkoto ssentebe wa siteegi y'e Juba e Kampala mu Kisenyi, agamba nti; Sudan eyimiriddewo ku birime ebiva e Uganda.

Ennaku zino ekizibu ekiriwo abasuubuzi baakendeeramu kuba baddeereva beediima olw'embeera mwe bakolera. Ebibbala n'ebirime ebiva e Uganda bisinga kutuukira mu butale okuli ak'e Gumbo, Konyokonyo, Jeberekujul, Munic ne mu kibuga Juba mu South Sudan.

Ng'embeera ya baddeereva abakolera e Sudan tennayonooneka tubadde tutikka emmotoka z'ebyokulya omuli amagi, ebinjanjaalo, nniimu, obutunda, wakati w'ennya n'omukaaga buli lunaku. Kati mu mbeera eno ey'obweraliikirivu, tetusuzza mmotoka nnya nga buli mmotoka etikka bbookisi z'ebibala 70 oba 80.

EKIVDDEKO EBIBBALA OKUKENDEERA                                                                                                                                                                   Dr. Julian N. Adyeri Omalla mulimi wa bibala era, omutandisi wa Nwoya Fruit Growers Cooperative Ltd. agamba nti ebibala bikendedde olw'abasuubuzi abava e Kenya ne babisuubula. Ekirala, abavubuka tebeenyigidde mu kulima bibala nga beekwaasa nti bitwala obudde bungi.

"Mu kiseera kino nkolagana ne gavumenti mu pulojekiti okulaba nti nsomesa abavubuka 6,000 okubaagazisa okulima ebibala. Gavumenti etuyambe ku biwuka nga fruit fly, BBS kubanga bivaako endwadde ezirumba ebibala byaffe era ebiwuka bino bikyatulemesezza okuyingira akatale mu Bulaaya.

OBUKULU BW'EBIBALA MU KULWANYISA SSENNYIGA OMUKAMBWE                                                                                                       Christine Kyarituha omukugu mu byendiisa: Abalwadde ba ssennyiga omukambwe beetaaga ekirungo kya Vitamin ‘C' ne ‘D' okusobola okulwannyisa endwadde eno. Kyarituha yagambye nti okulya ebibbala kyokka tekigaana muntu kukwatibwa Covid -19, naye kimuyamba okugumya omubiri okwerwanako n'atakosebwa nnyo ssinga alumbibwa ssennyiga omukambwe.

Yagasseeko nti Vitamin ‘D' wa mugaso mu kugumya ebinywa, era ono omuntu asobola okumufuna mu musana oba emmere ng'amata. Ebirungo bino biva mu bibbala n'emmere gye tulya. Ekiriisa kya Vitamin ‘C' kiva mu bibala. Waliwo ekipimo omuntu kye yeetaaga mu mubiri buli lunaku, abasajja n'abakazi beetaaga 70mg, abaana abato beetaaga okuva 30-50mg, abavubuka wakati w'emyaka 10-19 beetaaga 70- 85mg kubanga balina obwetaavu bungi ,baba bakyakula.

Olw'okuba ekiriisa kya Vitamin C , tekirwa mu mubiri omuntu alina okulya ekibbala buli lunaku.Ssinga omuntu abadde alya ebibbala nga amapapaali (mulimu obungi bw'ekirungo kya vitamin C 87mg), emicun gwa(70mg),amapeera(125mg), enniimu(19mg) n'enva endiirwa kiba kyangu okulwanyisa ssennyiga omukambwe. 


Source
Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts