
NEWANKUBADDE Poliisi yagaanyi okukuba ebiriroliro ng'abantu bayingira omwaka omuggya 2021, e Jinja byakubiddwa ku lutindo lwa Source of the Nile olupya.
Wabula abadigize baafunye omwagaanya okugenda mu bbaala okulya obulamu nga bagamba nti Covid 19 yabalalako emirembe era okudigida kubadde kufuuse lufumo.