Saturday, January 2, 2021

Abayimbi abato n'abakulu battunse mu mpaka za 'Akasengejja Music Awards'

Abayimbi abato n'abakulu battunse mu mpaka za 'Akasengejja Music Awards'

Wadde ensike y'okuyimba ekyali ku muggalo olw'ekirwadde ssenyiga omukambwe owa corona, abayimbi abasobodde okukola ennyimba ezicamudde abantu mu mwaka oguwedde basiimiddwa.

Bano bawereddwa satifiketi ku mukolo ogubadde ku kitebe kya Vision Group olunaku lwa leero nga gutegekeddwa aba pulogulaamu esunsula n'okubaganya ebirowoozo ku mutindo gw'ennyimba naddala ezo ezibeera za kakolebwa abayimbi eya Kasengejja ng'eno ebeerawo buli Lwamukaaga ku Bukedde Tv 1 okuva ssaawa 5:00 ez'okumakya okutuuka 6:00 ez'emisana.  

Moses Kimera ne Joseph Bate abagiwereeza bategezezza nti olw'okuba omwaka gubadde muzibu nnyo eri abayimbi nga n'abamu eby'okuyimba babiwuumuza.

Abo abasobodde okukola myuziki n'akwatayo bagwanidde okusiimibwa mu mbeera ey'okubazaamu amaanyi.

Okwawuukanako n'empaka bulijjo lwe balonda omuwanguzi omu asinze, bano basazzeewo okusiima abayimbi abaweerako ku buli mutendera nga bagamba nti bonna abasunsuddwa bakoze bulungi.

Bagasseko nti n'omwaka guno bagenda kuddamu empaka zino kyokka ku mulundi guno bajja kulondamu omuntu omu anabeera asinze banne ku buli mutendera bamuwe engule.

Emitendera n'abawanguzi ab'enjawulo abasimiddwa.

1. Omuyimbi omuto omuwala asinze (Pictures)

       -Felista

        -Stone Age

        -Rahma Pinky

2.Omuyimbi omuto omulenzi asinze(Pictures)

        -King Rapper

        -Kapiripiti

        -Fresh Kid

3. Oluyimba lwa collabo olusinze(Remix and Pictures)

     -Long time-Maulana and Reign ft Betina Namukasa

     -Bad-Krackbone and All Female Stars

     -Betooloze-Gravity and Mutoni

     -Tonerabira-Daddy Andre ft Angela Katatumba

     -Hinduramu-Emily Kyikazi  and Ntare

     -Kyolina Omanya-Sheebah and Crysto Panda

     -Kwata Essimu-Free Boy and Winnie Nwagi

4. Omuwandiisi w'ennyimba ow'omwaka(Pics)

    -Joshious Dryta

    -Azawi

    -Fyno

    -Pallaso

    -Nessim

    -Daddy Andre

5. Omuyimbi w'ebuvanjuba asinze(Remix and Pics)

    -Kalumba Paul

    -Akongo

    -Land Soldier

    -Vanie Taylor

6. Producer asinze (Pics)

     -Diggy Baur

     -Brian Beats

     -Artin Pro

     -Ricko

     -Nessim

     -Daddy Andre

7.Oluyimba lwa band olusinze (Remix and Pics)

    -Onkuba-Mesach Semakula

    -Ndagilira-Carol Nantongo

    -Tokyuuka-Chosen Becky

    -Longtime- Maulana and Reign ft Betina Namukasa

    -Minzaani-Mary Bata

    -Ninda- Sheebah

    -My last-Umar Mwanje

    -Bikalubye-Chris Evans

    -Ensi-David Lutalo

    -Malamu-Pallaso 

8. Oluyimba lwa dancehall olw'omulenzi olusinze(Remix)

    -Kyolina Omanya-Crysto Panda

    -Present Sir-Twilight

    -Sharp Shooter-Chosen Blood

    -Muyayu-Mudra

    -Wulira Enyumba-Suspect Leizor

    -Akomererwe-Pallaso

9. Oluyimba lwa dancehall olw'omuwala olusinze(Remix and Pics)

     -Understand.. Kapa Cat

     -Ebiluma Abayaaye-Ryna Bae

     -Ntinka Nkutike-Nina Rose

     -Balance-Karol Kasiita

10. Oluyimba lw'amazina olusinze(Remix)

        -Wulira Enyumba-Suspect Leizor

        -Sharp Shooter-Chosen Blood

        -Kyolina Omanya-Crysto Panda ft Sheebah

        -Bino Bye Biluma Abayaye-Crysto Panda

        -Nyabo-Gravity Omutujju

        -Balance-Karol Kasiita

        -Tumbiiza Sound-Eezy

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts