Sunday, January 3, 2021

Okukola entebe za saluuni kulimu ssente

Okukola entebe za saluuni kulimu ssente

BULI olukya tekinologiya eyeeyambisibwa mu kukola ebintu eby'enjawulo akyuka.Saluuni omuli entebe z'embaawo ezaakazibwako erya ‘mwasajjute' bakasitoma bagenze bazeebalama, kati bakola za mulembe era bayoola ssente.

Engeri gye zikolwamu
 Okukola entebe zino beeyambisa ebyuma, sipongi n'amaliba ag'okungulu.
 Ebyuma basinga kweyambisa kika kya ppayipu ezitundibwa mu matundiro g'ebyeyambisibwa mu kuzimba (Hardware) ku 17,000/- ne 22,000/- okusinziira
ku bunene ne kkampuni ezikola wabula zonna za ffuuti 20 mu buwanvu.
 Wabula waliwo n'abagula ezikozeeko ezitundibwa mu kkiro ku 2,300/- buli emu.
 Sipongi oba emitto okutuulwa mu ntebe zino bbeeyi nayo esinziira ku bunene bw'omubiri, kkampuni egikola n'obungi bw'ogula wabula ng'abasinga bagula gya yinci
4 nga tekuli ngoye wakati wa 70,000/- ne 80,000/-.
 Amaliba agassibwa kungulu gatandikira ku 12,000/- okudda waggulu buli mmita.
 Entebe yonna ng'ewedde okukola etundibwa wakati wa 120,000 /- ne 150,000/- okusinziira ku mutindo gw'ebintu ebigenzeeko
n'obunene bwayo.
 Bw'ogatta ebigendako ssaako ne ssente z'obukozi osigala ng'osobola okufi
ssa wakati wa 20,000/- ne 30,000/- buli emu wabula nga buli lunaku osobola
okukola ezisukka mu 10 singa olina abaguzi ne kkapito.

Binyonnyoddwa Edward Mwanje akola entebe zino mu Ndeeba.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts