Saturday, January 23, 2021

Buubuno obukwakkulizo gavumenti bw'eyagala okussa ku Bobi

Buubuno obukwakkulizo gavumenti bw'eyagala okussa ku Bobi

GAVUMENTI eyagala Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) alangirire nti tagenda kwetaba mu bikolwa bya kwekalakaasa bw'aba ng'ayagala poliisi n'amagye bive mu maka ge e Magere, asobole okwetaaya.

Okuva nga January 14, 2021 lwe yakuba akalulu k'Obwapulezidenti, Kyagulanyi akuumibwa mu maka ge olw'okutya nti yali ategese okwekalakaasa singa tebamulangirira ku buwanguzi.

Gavumenti ng'eyita mu looya waayo Martin Mwambusya yagambye nti okuggyako nga kkooti etadde obukwakkulizo obw'amaanyi ku Bobi omuli okulangirira nti tagenda kwekalakaasa tebawagira kya kkooti kulagira baserikale kuva mu maka ge.

Akakwakkulizo akalala gavumenti ke yasabye kkooti, kwe kulagira Kyagulanyi okugondera amateeka ga Covid19 agaateekebwawo minisitule y'ebyobulamu nga tabeera mu bifo ebirimu abantu abangi.

Mwambusya yagambye nti baafuna obuzibu ne Bobi nga akyali mu kampeyini era yaleese obujulizi bw'akulira ebikwekweto mu poliisi, Edward Ochom n'akulira ebyamateeka mu magye Godan Busingye nga bwonna bulaga nga bwe baagwa mu lukwe lw'abavubuka ba NUP abaali batendekebwa okutandika okwekalakaasa singa akakiiko k'ebyokulonda kabeera tekamulangiridde ku buwanguzi bw'entebe y'obwapulezidenti.

Ochom mu bujulizi bwe bw'asinziirako okusaba kkooti ekkirize abaserikale bagira bakyakuumira Bobi mu maka ge agamba nti kino bakikola okumulemesa okuzza emisango kubanga abadde yeenyigira mu bumenyi bw'amateeka ga Covid 19 era olumu yakuba enkungaana mu bifo gy'atalina kubeera.

Nti poliisi bwe yagezangako okumulemesa n'atandikawo embeera y'okwekalakaasa ekyaviirako abantu okufa.

Gavumenti era yagambye nti mukyala wa Bobi, n'abomu nnyumba abalala baddembe
okufuluma batambule nga bwe baagala naye Bobi ye takkirizibwa kufuluma.

Mwambusya yakomekkereza agamba Omulamuzi Micheal Elubu nti okusinziira ku mbeera Bobi gy'azze yeeyisaamu, asaana agira ng'akyakuumibwa mu maka
ge okutuusa ng'embeera eteredde.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts