Friday, January 1, 2021

Kyapambalaasi aziikibwa leero

Kyapambalaasi aziikibwa leero

OMUGAGGA w'eddagala lya Kyapambalaasi, Canon James Ddungu aziikwa leero ku kkanisa gye yeezimbira eya Uganda Martyrs Church e Busega.

Kyapambalaasi yaleka alonze akakiiko ak'okukola ku kufa kwe kwe yalondera Bp. Dunstan Bukenya, omulabirizi w'e Mityana eyawummula okukakulira okulaba ng'atuukiriza buli kye yalaama.

Bp. Bukenya baakola ne Kyapambalasi mu bulabirizi bw'e Mityana, gye yali asindikiddwa
okuweereza, ng'eno Kyapambalasi gye yafunira n'ekitiibwa kya Canon olw'okukolerera enyo ekkanisa.

Carol Nakiganda, muzzukulu w'omugenzi agamba; ku Lwokuna lwa wiiki ewedde jjajja
yafunamu obukosefu, twamutwala mu ddwaaliro lya Paramount Hospital e Makerere ne bamuwa ekitanda.

Yali alina ekifuba ne ssennyiga ate ng'akaluubirizibwa mu kussa. Baamuteeka ku byuma
bya oxygen ebimuyambako okussa, waayita ennaku ssatu embeera n'eyongera okutabuka.
Yafudde ku Lwokubiri.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts