Friday, January 1, 2021

Bobi Wine afunye bakanyama abapya n'addamu kampeyini

Bobi Wine afunye bakanyama abapya n'addamu kampeyini

ROBERT Kyagulanyi ‘Bobi Wine' yazzeemu kampeyini ze wakati mu kanyoolagano ne poliisi ng'agenda okunoonya akalulu e Bukomansimbi ne Mpigi.

Kampeyini za Bobi Wine zaafunyeemu omukoosi ku Lwokusatu, amagye ne Poliisi
bwe baamukutte ne ttiimu ye yonna omwabadde ne bannamawulire nga baakatuuka e
Kalangala, Bobi ne bamussa ku nnyonyi y'amagye ne bamuzza mu maka ge a Magere ate abantu abamu ne baggalirwa e Masaka.

Wabula ku Lwokuna ku makya Bobi yakedde kusimbula okuva mu maka ge e Magere mu Wakiso. Yayise ku luguudo lw'e Gayaza okudda ku Kaleerwe, Bwaise n'ayita ku luguudo lwa Northern Bypass okutuuka e Busega olwo n'akwata olw'e Masaka wakati mu bawagizi be okusaakaanya n'okumuwuubira bakira buli w'ayita.

Obubuga obusinga bwe yayiseemu ng'abantu bamulindirira ku kkubo nga bakutte
ebipande bye awamu ne beeyiwa mu luguudo. Okuva e Busega, Kyengera, Nabbingo,
Namagoma, Kitemu, Nsangi , Maya n'okweyongerayo kabangali ya miritale yagenze emukulembera okuggula oluguudo n'okugumbulula abaabadde bakungaanidde ku luguudo.

Kino baakikoze okuva e Kampala okutuusa lwe yayingidde mu bitundu by'e Mpigi.
Yatambudde bw'atyo okuva e Kampala okutuuka e Masaka nga buli kabuga w'atuuka
abantu bakuhhaanira ku luguudo nga bawanise ebipande bye n'okukuba enduulu nga bamwaniriza.

Aba Miritale Nga Bagoba Abantu E Kyengera.

Bwe yabadde tannaba kusimbula waka yasoose kwogera eri abaamawulire n'ategeeza nti okunyigirizibwa kwonna kw'ayitamu tagenda kudda mabega kubanga yakkaanya ne banne be baakutte nti omu ne bw'afuna obuzibu ne bw'abeera attiddwa abalala
balina okugenda mu maaso n'olutabaalo.

"Ndabula amagye ne poliisi nti mukozesebwa okutyoboola eddembe ly'abantu n'okukola ebikolwa ebimenya amateeka kyokka buli eyeenyigidde mu bikolwa ebyo ejja kuvunaanibwa ng'omuntu," Kyagulanyi bwe yalabudde.

Yajulizza ebigambo by'omugenzi Muhammed Kirumira bwe yagamba nti bw'osirika
bakutta era bw'oyogera bakutta awo we yasinzidde n'agamba nti naye alina okugenda mu maaso ng'ayogera kubanga abantu be bangi b'abadde atambula nabo bazze batuusibwako ebisago nga kimulaga nti ababibatuusaako babadde baluubirira bulamu bwe.

Olwamaze okwogera ebyo n'ategeeza nti agenda okunoonya akalulu mu disitulikiti y'e Bukomansimbi ne Mpigi kubanga teziri ku lukalala lwa disitulikiti 13 akakiiko k'ebyokulonda ze kaagaana okukuba kampeyini olw'ekirwadde kya Corona ekyeyongedde mu bitundu ebyo.

Olwamalirizza okwogera eri abaamawulire n'asimbula okwolekera disitulikiti y'e Bukomansimbi era yatambulidde mu mmotoka y'omubaka Francis Zaake.

Oluvannyuma lw'abadde akulira bakanyama be Eddie Mutwe okukwatibwa nga bagenze e Kalangala, eggulo Kyagulanyi yaleese bakanyama abalala abakulirwa Macete.

Abawagizi Ba Bobi Wine E Kyengera Nga Basaakaanya.

Ono ku Mmande ye yasinzidde mu kuziika Frank Ssenteza (kanyama wa Bobi eyafudde) n'awera nti tewali kigenda kumuggya ku Bobi okuggyako okufa.

Bobi yakyukidde poliisi n'ategeeza nti Bannayuganda abafa tebakongoka bukongosi ne
bafa wabula bakubwa masasi ne bafa.

Yagambye nti amasasi gano gakubibwa bitongole byabyakwerinda ebisasulwa ssente z'omuwi w'omusolo okukuuma abantu.

"Tetulina tteeka lye tumenya kubanga singa nnina omusango bandibadde bankwata ne bansiba kyokka bwe bankutte bantadde mu kamotoka ka poliisi mwe bansibidde ne Eddie Mutwe ne batufuuyira kaamulali nga tuli mu kamotoka ako."

Yagambye nti newankubadde waliwo abattibwa, abantu tebajja kufa kuggwaawo kubanga wakyaliyo n'abato abazaalibwa. Ekirina okukolebwa kiri kimu kugoberera
mateeka nga bagoberera enteekateeka eyafulumizibwa akakiiko k'ebyokulonda.

Yagambye nti yabadde tamanyi kiki kinaamutuukako olunaku lw'eggulo kyokka yabadde alina okweyongerayo okutuukiriza omulimu ogwamutumibwa Katonda.

Yagasseeko nti, ebigenda mu maaso bigenda byongera okwanika akakiiko k'ebyokulonda kubanga byonna ebizze bigwawo tekalina kye kanyega.


Source
Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts