EDWARD LUYIMBAAZI
OMULAMUZI Eudes Keitirima owa kkooti y'ebyettaka, alagidde omusango ogwawaabirwa Omulangira David Wasajja, okwezza ettaka ly'e Buziga guwulirwe.
Omusango guno gwawaabwa abaana ba Mohammed Kasasa okuli; Sarah Nabuwule, Janet Nakawunde ne Farida Zabali ababeera e Bulaaya, nga bavunaana Wasajja okukozesa ekifo kye nga mmemba w'akakiiko akavunaayizibwa ku ttaka mu Buganda (Buganda Land Board), okudondola ettaka lyabwe erisangibwa e Buziga ku 1,000/-, sso nga baali baalonda Kasasa okubakiikirira.
Wasajja yasaba omusango gugobwe ng'agamba nti obuyinza obwaweebwa Kasasa tebwali mu mateeka kuba liizi y'abaana yali eweddeko. Kasasa yali yagula ettaka lino mu 1970, n'alissa mu mannya g'abaana, wabula nga liizi eneetara okuggwaako ne baagala balizze mu mannya ga kitaabwe.
Omulamuzi yakkirizza nti liizi yali eweddeko mu 1998, ng'abaana we baaweera Kasasa obuyinza mu 2005, baali tebakyalina lukusa kubumuwa. Wabula yagambye nti kino tekikosa musango gwawaabwa baana bano ku ngeri gye baggyibwako liizi, bwatyo n'alagira gugende mu maaso okuwulirwa.