ESSIGA eddamuzi livumiridde ekikolwa ky'abayizi okuva ku ttendekero lya bannamateeka erya Law Development Center (LDC) abeekwata ku katambi ku kkooti mu budde obw'okukola nga bazinira ku luyimba olumanyiddwa nga ‘Tumbiiza'.
Akatambi kano akabadde katambula ku mikutu gya soso midiya baakekwata ku Mmande mu budde bw'okukola nga bali ku kkooti y'ebyobusuubuzi emanyiddwa nga Commercial Court nga bwe banyenya obubina n'okuzina nga bakka wansi n'okwambuka.
Okusinziira ku mulamuzi wa kkooti eno Ann Mugenyi Bitature, ebikolwa by'abayizi bano abali mu pulogulaamu y'okwegezaamu okumala emyezi 4 (clerkship) ku kkooti, batyobodde ekitiibwa ky'essiga eddamuzi era booleka abantu abatalina buvunaanyizibwa.Omulamuzi Mugenyi ategeezezza nti abayizi bano okuli Ann Kakidi, Mary Zerida Nabirye, Pearl Katusiime ne Kellen Kalungi baalabuddwa ne betonda mu buwandiike.
N'etendekero lya LDC eribatwala nalyo lyavuddeyo ne litegeeza nga bwe ligenda okukwata ensonga eno n'amaanyi nga batambulira ku mateeka g'empisa agabafuga.