Wednesday, January 6, 2021

Omuwala ow'emyaka 11 eyasobezebwako avunze

Omuwala ow'emyaka 11 eyasobezebwako avunze

ABAZADDE b'omwana eyasobezebwako balaajana olw'omwana waabwe okutandika okuvunda mu bitundu eby'ekyaama ng'ate tebannafuna bwenkanya.

Bazadde b'omwana nga basobeddwa.

Abazadde bano: Umar Lweere  ne mukyala we Sharifah Nabembe abatuuze b'e Bubbaale mu Ggombolola y'e Gombe mu disitulikiti y'e Wakiso be balaajana olw'omwana waabwe okutandika okuvunda. Bagamba nti omusajja eyategeerekeseeko erya Matovu ye yamusobyako kyokka bagamba nti ne ku poliisi gye baamutwala nga bamanyi nti bagenda kufuna obwenkankya tebaabufuna nga bakanya kubasaba ssente ze bagamba nti tebazirina.

Omuwala eyasobezebwako yategeezezza nti bwe yali agenda ku dduuka, Matovu kwe kumukwata era yaddamu okutegeera ng'ali mu ddwaaliro.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Luke Owoyesigyire yagambye nga poliisi bwe babadde bakyanoonyereza obujulizi obulumiriza Matovu n'asaba Lweera okugenda ku poliisi ssinga wabeerawo okwemulugunya.

Luke era yagambye nti Matovu omusango gwe guli ku fayiro nnamba 15/11/12/2020.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts