
EKIBINJA ky'abavubuka ba NRM abeegattira mu kibiina kya YKM Vigilants 2021 bagumbye ku nguudo nga bawakanya ekya bannaabwe okwenyigira mu kwekalakaasa ekivaako obutabanguko mu bitundu .
Ekibinja kino ekikulembeddwaamu Braize Nathamanya basimbudde ku ofiisi zaabwe e Kawempe ku makya ku Lwokusatu ne batambula ku nguudo ne bayita mu Kawempe , Bwaise , Makerere nga bamalidde Wandegeya mu Katanga. Babadde bakutte ebipande bya pulezidenti Museveni n'e birala eby'abeesimbyewo mu kitundu ku kaada ya NRM .
Nathamanya yagambye nti abavubuka bangi babakozesa mu bikolwa ebimenya amateeka ekibaviirako okufuna ebisago oba okufiirwa obulamu bwabwe .Era ebikolwa bino bireeta obutanbanguko mu ggwanga .
Yagambye nti bagenda kusiiba mu Kawempe South nga banoonya akalulu k'abakulembeze b'ekibiina kyabwe nju ku nju mu kitundu kino.