Ng'Abakristaayo bagenda mu maaso n'okunyenya amatabi bakubiriziddwa okukuumanga ebyama basobole okuyimirizaawo amaka.
Bino byogeddwa omusumba Elisa Mayanja ku kkanisa ya St. Stephens e Kireka n'abakubiriza n'okwekwasa Katonda okubasobozesa okuyita mu bibasoomooza mu bulamu.
Bakira buli ayingira mu ssinzizo asooka kunaaba mu ngalo ssaako n'okukeberebwa ebbugumu ly'omubiri ng'omu ku kaweefube w'okulwanyisa ekirwadde kya ssenyiga omukambwe Covid 19.