Wednesday, March 24, 2021

Abasuubuzi temuterebuka nga mufunye ebibasoomooza

Abasuubuzi temuterebuka nga mufunye ebibasoomooza

Bya PONSIANO NSIMBI

Omumyuka wa Bwannamukulu w'ekigo kya Yezu Kabaka mu Kampala, Fr. Remigious Sserugga asabye Abakristu bulijjo obutaterebuka nga bafunye ebibasoomooza mu bulamu bwabwe. (Ebif. Bya Ponsiano Nsimbi)

Aba kkwaaya nga bayimba mu mmisa.

Bino abyogeredde mu mmisa gyakulembeddemu ku kizimbe kya Sunset Arcade ku Wilson Road mu Kampala eyeetabiddwamu abasuubuzi b'omu Kampala nga beebaza Mukama Katonda okubayisa mu kiseera kya Corona, okubawa obulamu n'okusabira abagenzi. Mmisa eno etegekebwa Kenny Mugalu amanyiddwa nga Ice Kenny nnannyini saluuni ya Princess of Beauty salon.

Abamu ku beetabye mu mmisa.

Fr. Sserugga ategeezezza nti ekisiibo kye kiseera Abakristu kye balina okukozesa okweddaabulula n'okweddaabiriza nga bakolerera okuzzaawo omukwano wakati waabwe ne bantu bannaabwe ssaako ne Katonda.

Asiimye ba Mugalu olw'enteekateeka eno n'abakubiriza okwongera okunyweza obumu n'okubeera n'omugongo mu buweereza bwabwe. Agambye nti bwe twesiga Mukama Katonda mu mbeera zonna kizibu okutwabulira mu biseera eby'okusoomoozebwa.

Ice Kenny ng'akwasa Fr. Sserugga ebirabo.

Ye Mugalu ku lw'abasuubuzi abakolera ku kizimbe kino asiimye banne olw'obutamulekerera n'abasaba okutwala mu maaso omutima ogw'obumu. Mmisa yeetabiddwamu n'abayizi b'ettendekero lya  Princess of Beauty salon ng'era be baatonye ebirabo ebikalu.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts