Ssaabandinkoni w'e Luzira, Rev. Canon Moses Banja , akuutidde abayizi ba P.7 abagenda okutuula ebigezo obutabitya, kubanga Katonda ali wamu nabo, abamanyi era abaagala. Abakwasizza ekyawandiikibwa kya Nabbi Isiah 43: 1-6 n'abasaba bagumire ku Mukama bajja kubiyita.
Rev. Banja bino abyogeredde ku ssomero lya Kireka C/U Primary School ng'era ali ku kakiiko akatwala essomero lino bw'abadde ku mukolo gw'okusabira abayizi ba P7 abagenda okutuula ebigezo bya PLE.
Yeebazizza Katonda olw'abayizi abo abagenda okutuula ebigezo, okubasobozesa okutuuka kati nga bakyali mu ssomero olw'okusoomoozebwa kw'ekirwadde kya COVID 19 akyavaako abayizi abamu okufuna embuto nga tebanneetuuka, olw'omuggalo ogubadde omuwanvu.
Bano basookedde mu kusaba mu kkanisa ya St. Stephens Kireka C/U ng'omusumba Esmond Sserunjogi ye yabasabidde. Yabagambye nti Katonda y'agaba obuwanguzi noolwekyo bamwekwate kubanga ayagaliza.
Ate Alice Bantemya akulira essomero lino, yeebazizza mukama olw'olunaku luno n'asiima n'abasomesa n'abazadde olw'okufaayo okugunjula abaana.