Tuesday, March 23, 2021

KCCA eyodde boodabooda ku luguudo lwa Namirembe

KCCA eyodde boodabooda ku luguudo lwa Namirembe

Bya Samuel Balagadde

Abakwasisa amateeka mu KCCA baatayizza boodabooda zino okuva ku Luwum Street okutuuka mu masang'anzira omutunudde ekizimbe kya  Mutaasa Kafeero nga tebalina we baddukira.

Zassiddwa ku Kasiringi ne zitwalibwa wabula ng'embeera yabadde nzikakkamu  kuba batutte ekiseera nga babalabula okuva mu bifo bino. Okugoba aba boodabooda ku luguudo luno kiddiridde okusooka okugobako abatembeeyi wadde ng'obudde bwakawungeezi babeerako.

Daniel Nuwaebine omwogezi wa KCCA yagambye nti batutte ekiseera nga balabula abantu bano okuva ku luguudo luno kyokka ne beerema. Yagambye nti bannannyini boodabooda ezaakwatiddwa bagenda kuvunaanibwa olw'okunyomoola ebiragiro by'ekibuga Kampala.

Oluguudo luno okuva ewa Bakuli okuyita ku Pride Theatre ,Blue Room, Mini Price okuyita okwambuka ku Luwum street okutuuka ku Ntebe Road baalugobako ab'ebidduka nga baabigere bonna be balina okuluukozesa wadde nga luyisa mmotoka mu bitundu ebimu.

 

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts