Tuesday, March 23, 2021

Eyasobezebwako n'atemwako omukono ayagala bwenkanya

Eyasobezebwako n'atemwako omukono ayagala bwenkanya

Bya FAISAL KIZZA

Omuwala eyasobezebwako omusajja Derrick Guloba 25, n'amutemako n'omukono wamu n'okumutuusaako ebisago ebirala ng'akozesa ejjambiya alaajanye.

Juliet Khainza maama wa Namasobo.

Agamba nti wadde baatwala omusango ku poliisi ne Guloba n'akwatibwa, mu nnaku bbiri baali bamutadde. Kigambibwa nti Guloba okumutuusaako  obulabe kyaddirira okwagala okumuwasa kyokka omuwala bwe yamugaana n'amuggulako olutalo.

Bino byaliwo nga 3/8/2020 ku kyalo Nakatsi mu ggombolola y'e Nakatsi mu disitulikiti y'e Bududa. Juliet Khainza maama w'omuwala yategeezezza nti Guloba okutema omuwala yali aliko gy'ava ku ssaawa 3:00 ez'ekiro n'amusobyako n'okumutema n'amutuusaako ebisago. Agamba nti ensonga baazitwala ku poliisi y'e Bududa kyokka tebaayambibwa.

Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Elgon, ASP Rogers Tayitika agamba nti omusango guno gyeguli ku poliisi e Bududa, kyokka waaliwo obulagajjavu poliisi okuyimbula Derrick Guloba ku kakalu kayo n'awakanya ebigambibwa nti Guloba yawa poliisi obukadde 2 okumuta.

Kyokka Mariam Mwize omulwanirizi w'eddembe mu kibiina kya Human Rights Overseas Workers Voice Uganda yategeezezza nti poliisi y'e Bududa ekoze kinene okuvuluga emisango gy'ekikula kino.

 

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts