Tuesday, March 30, 2021

Kitalo! Hajji Katongole owa UTODA afudde.

Kitalo! Hajji  Katongole owa UTODA afudde.

Kitalo! Hajji Musa Katongole owa UTODA afudde. Kigambibwa nti yafudde ssaawa 10:00 nga bukya. 

Ono abadde assiza ku byuma mu ddwaaliro lya TMR International Hospital e Naalya ng'
'ajjanjabirwa mu kasenge k'abalwadde abayi aka Intensive Care Unit (ICU).


Katongole yabadde bweru wa ggwanga gye yavudde nga teyeewulira bulungi. Embeera yayongedde okutabuka n'atwalibwa mu ddwaaliro.

Abadde alumizibwa mutima era olumu yalongoosebwa mu Buyindi bwe gwazuulibwa nga gubikkiddwa amasavu. Okuva olwo abadde akola dduyiro ng'asinga kulabibwa ku Mosa Courts e Nakasero. Ekifo kino kya mukwano gwa Katongole era omumyuka wa Ssentebe wa NRM, Hajji Moses Kigongo.

Wiiki ewedde mikwano gya Katongole n'abooluganda baamusomedde edduwa Allah amussuuse. Dduwa yakulembeddwa Sheikh Kanyebwa.

Bukya UTODA eggyibwawo, Katongole abadde asinga kuweerereza Kibuli n'emirimu gye gy'akolera e Kampalamukadde n'e Wandegeya.

Alina amaka e Kanyanya ebeera Hajjati Sania Katongole n'e Ntinda ebeera Hajjati Fatuma Katongole ne ffaamu e Bugerere gy'alundira ente n'okulima.

Entegeka  z'okumuziika zikolebwako. Tugenda kukuleetera ebisingawo.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts