Tuesday, March 30, 2021

Ekisiibo kitegeeza kwezza buggya- Fr. Makanga

Ekisiibo kitegeeza kwezza buggya- Fr. Makanga

BYA SAMUEL TEBUSEEKE

Mu kaweefube w'okwongera okubunyisa enjiri ya Bayibuli wamu n'okumalawo okwesosola mu bagobereze ba Kristo mu bitundu by'e Gayaza (Kyaddondo East), Fr. Jude Makanga bwanamukulu w'ekigo ky'e Gayaza n'abamu ku b'akulembera nabo bakyaliddeko ekitebe ky'obusaabadinkoni bw'e Gayaza Archdeaconry Namirembe Diocese.

Yayaniriziddwa Ven. Herbert Kabanda Nyanzi ssaabadinkoni w'e Gayaza wamu n'ababuulizi okuva mu Busaabadikoni bw'e Gayaza era oluvannyuma Fr. Makanga ne Rev. Kabanda beesozze akafubo.

Oluvannyuma Fr. Makanga yawadde obukaba bw'Ekisiibo n'ategeeza nti abantu basaanye okukozesa ekisiibo kino okwezza obuggya badde eri Katonda era beenenye ebibi byabwe balyoke bafune obulamu obulungi. Yayogeddeko nti kino kye kiseera buli muntu ave gye yeekwese yeeyoleke Mukama Katonda we era yeenenye anaamusonyiwa. Makanga yategeezezza nti ekyamututte ku kitebe ky'Obukristaayo kwe kulaba Abakristaayo wamu n'abakatuliki mu bitundu by'e Gayaza banyweza obumu kuba Katonda gwe tusinza ali omu.

Faaza Makanga (ku kkono) ne Ven. Kabanda mu kafubo.
Faaza Makanga (ku kkono) ne Ven. Kabanda mu kafubo.

Ven. Kabanda yagambye nti Ekisiibo kino kitegeeza kusonyiwa bannaffe bwe twawukanye mu ndowooza mu byobufuzi n'okumanya nti tuli baaluganda anti aboluganda bita ne bwe bikoonagana tebyatika.  Yasabye abaayiseemu mu kulonda okwakaggwa bakozese ekiseera kino okutuukiriza ebisuubizo byabwe ebiri mu ‘manifesito' ze baalaga abalonzi nga banoonya akalulu.

 Fr. Makanga yategeeza nti bakkaanyiza nti ennaku ezimu ezigatta enzikiriza zino okuli Olwokutaano Olutukuvu bajja kusabiranga wamu singa baddamu okubakkiriza okutambuza kkubo lya Musaalaba n'ennaku endala.

Rev. Kabanda yeebazizza Fr. Makanga okumukyalira n'asaba abantu okwongera okwegayirira ennyo mu kisiibo kino basobole okuzuukirira awamu ne Yesu.


Source
Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts