Tuesday, March 30, 2021

Akabaga k'aba P7 kaggweeredde mu maziga, 25 abagenda okukola PLE bataawa

Akabaga k'aba P7 kaggweeredde mu maziga, 25 abagenda okukola PLE bataawa

AKABAGA k'abayizi ba P7 abeetegekera ebibuuzo bya PLE kaggweeredde mu maziga. Abayizi abaakeetabyeko baddusiddwa mu ddwaaliro nga bataawa nga kigambibwa nti emmere gye baalidde yandibaamu obutwa.

Emiranga gyabuutikidde eddwaaliro ly'e Gombe-Butambala, abazadde b'abaana bwe bazze okubalaba ne basanga nga bassiddwaako amacupa. "Allah onsaasire, kiki ekigenda okunzitira omwana wange okumusubya ebibuuzo bya PLE", bakira omuzadde Amina Nakatemwa bw'awanjaga.

Kyokka ab'eddwaaliro ly'e Gombe baagambye nti tebannakakasa oba abaana baalidde butwa mu mmere oba ng'emmere ye yabaddeko ekizibu n'ebalwaza (food poisoning).

Ekikangabwa kyagudde mu ssomero lya Butende UMEA e Ngando mu Butambala. Abaddukanya essomero baakoledde aba P7 akabaga k'okwetegekera ebibuuzo bya PLE ebitandika enkya ku Lwokubiri. Abazadde nabo baayitiddwa ku kabaga kano ku Lwokuna oluwedde.

Omu Ku Bayizi Ng'ali Ku Kitanda Mu Ddwaaliro E Gombe.

Omu Ku Bayizi (ku Kkono) Ng'ali Ne Muzadde We Mu Ddwaaliro.

Omuyizi Wa P7 Mu Ddwaaliro.

Rdc Lubwama( Ku Ddyo) Ng'aliko By'abuuza Omuyizi Mu Ddwaaliro E Gombe.

Abayizi ba P7 abawera 35 beetabye ku kabaga kano kyokka bwe kaawedde baatandikiddewo okusesema, okukolola, okulumwa emitwe n'embuto okubanyoola.
Baatwaliddwa mu ddwaaliro lya Ngando Health Centre III ne bafuna obujjanjabi obw'amangu. Embeera y'abayizi 25 yeeyongedde okutabuka ne bongerwayo mu ddwaaliro e Gombe.
Akulira essomero, Suman Kigozi yannyonnyodde nti, baayanguye okufuna ambyulensi ezaabatutte mu ddwaaliro nga bakaaba nnyo. Baasangiddwaamu obutwa mu mubiri ne bassibwako amacupa. Era 21 bakyajjanjabibwa e Gombe ate abalala bana baayongeddwaayo e Mulago.

Kyokka Bukedde teyasobodde kubalaba e Mulago. Amannya gaabwe tegaayingiziddwa mu bitabo by'awatuukira abayi. Kyokka Kigozi yagambye nti balina essuubi ly'abayizi okussuuka bakole ebigezo bya PLE enkya.

Abasawo e Gombe baagambye nti abayizi okunafuwa ennyo kyavudde ku kusesema kyokka baafunyeemu olungubanguba oluvannyuma lw'okubassaako eccupa.
RDC wa Butambala, Sulaiman Lubwama Bucca yagenze e Gombe okulaba abaana n'alagira poliisi okunoonyereza amangu ekyavuddeko abayizi okulwala ng'ebigezo bituuse.

Abasawo bakyakebera ebyaggyiddwa ku baana okuli ebisesemye okuzuula ekituufu oba mmere ye yabalwazizza oba baalidde butwa.

Omukulu w'essomero yagambye nti kiyinzika okuba ng'obuzibu bwavudde ku mmere n'ebintu ebirala bye baalidde ku kabaga. Kubanga ekijjulo eky'awamu eky'abazadde n'abaana ekyafumbiddwa abafumbi b'essomero kirabika tekyabaddeko buzibu.

Okuggyako abayizi abaalwadde, bo abazadde n'abasomesa tekuli yafunye buzibu.
Abayizi abali mu mbeera embi kuliko Kasim Musoke 13, Ibrahim Kisekka 14, Sarah Namayanja 13, Misah Nakibuuka 14, n'abalala 14 .

Akulira okunoonyereza ku buzzi bw'emisango mu Butambala, Zakalia Mbabazi yategeezezza nti batandise okubuuliriza ku kikangambwa kino nga beesigama ku bbaluwa z'abazaw

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts