Pulezidenti Yoweri Museveni asabye ababaka ba NRM okuwagira enteekateeka za Gavumenti ez'okutumbula amakolero eggwanga bwe liba lya kukulaakulana.
Yategeezezza nti amakolero kye kimu kw'ebyo ebitunuuliddwa ng'eby'oku mwanjo ebigenda okuyambako okusitula ebyenfuna bya Bannayuganda okuvvuunuka obwavu.
" Mbasaba bwe mubeera mu palamenti munnyambeko okwongera okusikiriza ba musigansimbi okuteekawo amakolero naddala ago agakola ebyamaguzi ebirina akatale kuno ssaako n'ebyo ebiyinza okutundibwa mu mawanga g'ebweru''.
Yabadde mu lusirika e Kyankwanzi olugendereddwa okusomesa ababaka ba NRM abapya ku ngeri y'okuddukanyamu emirimu mu Palamenti, okukulemberamu enteekateeka z'okukulaakulanya eggwanga wamu n'okwongera okubaagazisa ekibiina kya NRM olwo nabo basobole okunnyonnyola Bannayuganda ebirungi ebiri mu kibiina kino.
Yayongede okukittaanya nti ensonga y'amakolero ejja kuyamba n'okutumbula eby'ensuubulagana wakati wa Uganda n'amawanga amalala nga kw'otadde n'okumalawo ekizibu ky'e bbula ly'emirimu naddala mu bavubuka .
Yakoonye ne ku nsonga y'ebyobulimi bwe yategeezezza nti si waakukoowa okujjukiza Bannayuganda okujjumbira obulimi bwa ssente okusinga okulima emmere ey'okulya yokka.
" Enkola ya tekinologiya ey'okweyambisa ebyuma bikalimagezi ye yokka eyinza okwongera amaanyi mu nkulaakulana y'eggwanga olw'ensonga nti tekinologiya asobola okwanaganya kumpi buli mpereeza mu ggwanga "
Wabula Dr. Nabukenya yasabye gavumenti okukola ku nsonga ezikyalemeseza Bannayuganda okwettanira ennyo enkola za tekinologiya n'amakolero. ,Yabasabye okukendeeza ku bbeeyi y'amasannyalaze ,obutateeka musolo mungi ku yinateneeti, okukangavvula abali b'enguzi wamu n'okumalawo obukwakkulizo obungi obutera okulemesa naddala abayiiya okubaako bye batandikawo.