Wednesday, April 21, 2021

Libadde ssanyu jjereere Omuloodi ng'ayingirawo mu maakage

Libadde ssanyu jjereere Omuloodi  ng'ayingirawo mu maakage

LIBADDE Ssanyu jjereere mu maka ga Loodi Meeya Ssaalongo Eria Lukwago agasangibwa e Wakaliga bw'abadde atuuka okuva mu ddwaaliro e Nairobi gy'abadde ajjanjabirwa.

Lukwago awaka ayaniriziddwa bannanyina nga bakulembeddwaamu mukulu we, Hajjati Salimah Nakabugo wakati mu ssanyu nga bagamba nti ababadde abasaasanya aAmawulire g'okubika Omuloodi babadde babamazeeko emirembe!

Omuloodi Nga Yaakatuuka Mu Makaage.

Lukwago Ng'atuddeko Ku Katebe Mu Makaage.

Ye Loodi Meeya Erias Lukwago asinzidde wano n'agumya Bannakampala  nti abasawo e Nairobi bamukozeeko bulungi era mwetegefu okuddamu okuweereza Bannakampala.

 

 

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts