ABASODOKISI okwetooloola Uganda beegasse ku bannaabwe mu nsi yonna okunyeenya amatabi nga bw'eri ennono y'Obukrisitaayo mu kwetegekera okujjaguza Amazuukira ga Kristo Yesu.
Ku Lutikko y'Omutukuvu Nicholas e Namungoona mu Kampala, Mmisa ekulembeddwaamu Ssaabasumba w'Eklesia y'Abasodokisi mu Uganda, Metropolitan Jonah Lwanga ng'ono asinzidde wano n'asaba gavumenti eyimbule abasibe bonna abaakwatibwa mu biseera by'okunoonya obululu baddemu okwetaayizza mu ddembe lyabwe ery'obuntu.
Kino Metropolitan Lwanga agambye nti Gavumenti bw'ebeera ekitya nga temanyi kyebanazaako kukola, etendeke abaserikale abanaasobola okubalondoola okuggyayo okutya kwerina nti baakuleeta obutabanguko mu ggwanga.
Ate mu kigo ky'Okufuusibwa kwa Yesu ku Anoonya Orthodox Centre e Namwatulira, Degeya-Kalagala mu Luweero, Kabona waayo Rev. Fr. John Kibuuka Bbosa asabye abantu okukozesa ekiseera kino okwekwata ku Mukama ate bayige n'okutambulira mu mazima n'obwenkanya mu bye boogera n'okukola.
Mu Klesia endala nayo okusaba kugenze mu maaso nga Paasika yaakukwatibwa ku Ssande May 2,2021.