Ebipya bizuuse ku muwala agambibwa okuwambibwa: "Muwala wange si muwambe ali mu bufumbo - maama"
Abeebyokwerinda mu Masaka omuli poliisi, CMI, UPDF ne ISO, banoonyereza ku kitaawe Abdul Kabugo Mugendawala ku biteeberezebwa nti, ye yapanze ekiboozi nti waliwo abaawambye muwala we ne bamusaba ssente...