Friday, June 19, 2020

Aba People 8 basibiddwa

Aba People 8 basibiddwa

BYA MARGRET ZALWANGO
OMULAMUZI omukulu owa kkooti y'e Makindye asindise abawagizi ba People Power munaana mu kkomera lwa kukuba ssepiki mu kaweefube eyatongozebwa ab'oludda oluvuganya nga basaba emmere.
Bano kuliko Paul Kato ow'e Lukuli Kkonge, Sadat Kaddu ow'e luwafu Makindye, Emmanuel Kibirige, Muhammed Kyazze,ne David Musiri. Abalala kuliko Eddie Mubiru, Kenneth Male ne Peter Waiswa nga bonna batuuze b'e Makindye ku lw'e Salaama.
Omulamuzi Prossy Katushabe abalagidde batwalibwe mu kkomera kubanga omulamuzi Irene Nambatya alina okuwulira emusango gwabwe tabaddewo wabula abasomedde omusango kyokka tabakkiriza kuddamu kubibavunaanibwa.
Bano bavunaaniddwa okukola obujagalalo , okwekobaana okuzza emisango ssaako okukyankalanya emirembe mu kitundu kyabwe.
Emisango kigambibwa nti baagizza nga june 16, 2020 bwebatambula nga bava mu Kosovo cell ku salama road nga bolekere ofiisi ya RDC we Makindye nga bakuba ssepiki nga baagala babawe emmere.
Bakkudda mu kkooti nga June 22 okuddamu ku misango egibavunaanibwa.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts