Ssentebe w'akakiiko k'ebyokulonda mu ggwanga Simon Mugenyi Byabakama asinzidde mu lukiiko lwa bannamawulire lw'atuuzizza leero ku Lwokubiri n'ategeeza nti olw'obulwadde bwa Corona obwazinga eggwanga bataddewo enkola eziruubirira okutangira abantu obuteeriraana mu biseera by'okunoonya obululu ne ku lunaku lw'okulonda.
Ekimu ku kye baggyewo be banoonya obululu okukuba enkung'ana mwe basisinkanira abalonzi. Abeesimbyewo ku bifo ebyenjawulo baweereddwa amagezi okweyambisa emikutu gy'empuliziganya okusobola okutuuka ku bantu.
Abaagala okwesimbawo basobola okweyambisa omukutu gwa website ogwa palamenti ne bawanulako empapula z'okwewandiisa ne bazijjuza. Abanaaba tebasobodde basobola okuzikima mu ofiisi z'akakiiko kyokka eyeesimbyewo alina okuwerekerwako abantu babiri bokka abamusemba.
Ku lunaku lw'okulonda abalonzi bateekeddwa okugoberera amateeka g'ebyobulamu omuli; obuteeriraana, okwambala masiki, okunaaba mu ngalo n'okukeberwa ebbugumu.
Abakulira ebibiina by'obufuzi ebyenjawulo balagiddwa okugoberera amateeka g'ebyobulamu nga bategeka obumyufu bw'ebibiina mwe basalirawo abantu abagenda okubakwatira bendera mu kulonda kwa bonna.
Abakulira emikutu gy'amawulire basabiddwa okulaba ng'abantu bonna abeesimbyewo baweebwa omukisa okutuusa obubaka bwabwe eri abantu. Abeesimbyewo be bajja okwesasulira ebisale by'okubakyaza.
Byabakama yagambye nti beesanze mu mbeera nga tebalina kiseera kirala kye basobola kutegekeramu kulonda kuba ennyingo ya 61 (2) ebalagira okutegeka okulonda kwa Pulezidenti n'ababaka ba Palamenti mu nnaku 30 ezisooka ng'ebula ennaku 122 ekisanja kiggweeko.
Ku ky'emikutu gy'amawulire n'engeri gye gigenda okuwaamu abeesimbyewo obudde, yasuubizza okwongera okwogera ne minisitule y'ebyempuliziganya, rkitongole ekivunanyizibwa ku mikutu gy'ebyempuliziganya (UCC) n'emikutu gy'amawulire balabe engeri y'okuyambamu abeesimbyewo.
Wadde ng'abantu abamu balina endowooza nti lwakiri okulonda kwandiyimiriziddwa ne kwongezebwayo, Byabakama yagambye nti kino tekiri mu buyinza bw'akakiiko k'abyakulonda.
Akakiiko kasabye kongerwe obuwumbi obulala 54 basobole okugula ebintu ebitaalengererwawo nga masiki ez'okwambalwa abalondesa, okussa sabbuuni n'amazzi mu bifo ebironderwamu n'ebyetaago ebirala ebizze olwa Corona.
Gavumenti yasooka n'ewa akakiiko k'ebyokulonda obuwumbi 465. Oluvannyuma akakiiko k'asaba okubongera ennyongereza ya buwumbi 160 ezitannaba kubaweebwa.
Akakiiko k'ebyokulonda kaasuubizza nga bwe kajja okuddamu okutunuulira embeera singa obulwadde bwa Corona buggwaayo mu ggwanga ng'okulonda tekunnaba kutuuka.
Byabakama yakikkaatirizza nti etteeka erifuga eby'okulonda libawa eddembe okusalawo engeri okulonda gye kulina okutegekebwa n'ekiseera we kulina okubeererawo.