Bya Moses Lemisa
OMUVUBUKA agambibwa okuba mu kibinja ekiteega abantu mu bitundu by'e Kawempe mu kiseera kya kafiyu bamukubye n'alonkoma banne poliisi n'ebakwata ne boogera obukodyo bwe bakozesa okubba.
Justus Bakansiimwe 23, ow'e Kyebando mu Kisalosalo zooni ng'asindiika kigaali mu katale ka Modern emagombe yasimbyeyo kitooke oluvannyuma lw'abasuubuzi ku Kaleerwe okumukuba nga bamulanga okuba mu kibinja ky'abavubuka ekiteega abantu mu bitundu ebyenjawulo mu Kawempe ne kibanyagulula.
Bakansiimwe emiggo bwe gyamuyitiriddeeko n'alonkoma banne okuli Rahman, Isma Kagiri, Wasswa, Ian, Fahad Ssuuna n'abalala
Abaalonkomeddwa poliisi yakutteko Isma Kagiri 22, omwetiisi w'emigugu mu katale ka Freedom ng'asula Kazo eyasoose okwegaana, bwe baamulaze akatambi nga bakuba omukazi gwe baabbyeko essimu n'asaba ekisonyiwo. Ssuuna naye yakwatiddwa.
Yagasseeko nti bakozesa obukodyo omuli ak'okwefuula abazannya omupiira n'ekigenderwea ky'okubba.
Manjeri Namukabya 27, ow'omu Kaleerwe zooni yagambye nti yabadde ava Kyebando kugula mata n'asanga abavubuka nga bazannya omupiira mu kibangirizi ky'oluguudo olukolebwawe baamutayiizza ne bamukuba eccupa ku mutwe ne bamubbako essimu ekika kya Techno W4 ebalirirwamu emitwalo 50. Yaguddewo omusango ku fayiro nnamba SD REF:21/10/06/2020.
BYA MOSES LEMISA
OMUVUBUKA agambibwa okuba mu kibinja ekiteega abantu mu bitunsu bye kawempe mu kiseera kya Kafuyi bamukubye nalonkoma banne poliisi n'ebakwata ne boogera obukoddyo bwe bakozesa okubba.
Justus Bakansiimwe 23 owe Kyebando mu Kisalo ng'asindiika kigaali mu katale ka Modern emagobe yasimbyeyo ekitooke oluvannyuma lw'abasuubuzi ku kaleerwe okukuba nga bamulanga okuba mu kibinja ky'abavubuka ekiteega abantu mu bitundu ebyenjawulo mu kawempe ne kibanyagulula , Bakansiimwe emigo bwe gyamuyitiriddeko nalonkoma banne okuli Ruhman , Isma , Wasswa , Ian , Fahad n'abalala
Abaalonkomeddwa poliisi yakutteko Isma Kagiri 22 mwetiisi wa migugu mu katale ka Freedom ng'asula Kazo yasoose kwegaana bwe baamulaze akatambi alaga nga bakuba omukazi gwe baabbyeko essimu n'asaba ekisonyiwo , yagasseko nti bakozesa obukoddyo omuli akokwefuula abazannya omupiira n'ekigenderwea ky'okubba abalala abaakwatiddwa kuliko Fahad Suuna.
Manjeri Namukabya 27 ow'omu Kaleerwe zooni yagambye nti yabadde ava Kyebando kugula matta nasanga abavubuka nga bazannya omupiira mu kibangirizi ky'oluguudo olukolebwa baamutayiizza ne bamukuba ecupa ku mutwe ne bamubbako essimu ekika kya Techno W4 ebalirirwamu emitwalo 50 oluvannyuma baakutte omupiira gwaabwe ne badduka , yaguddewo omusango ku Fayiro nnamba SD REF:21/10/06/2020