Fred Owino omutuuze mu Kakungulu zzooni e Kawempe ye yakwatiddwa n'aggalirwa ku poliisi y'e Kawempe. Poliisi erudde ng'enoonya Owino oluvannyuma lwa Rehema Namwanje okwemulugunya okumutiisatiisa ng'amulabula ave mu musango gwe yali yatwala ku poliisi y'e Kawempe ng'alumiriza George Ssenkoomi, akulira eddwaaliro lya Kamic okukyusa omwana we bwe yali agenzeeyo okumuzaalisa.
Owino yakwatiddwa Cherry Mbabazi akulira okunoonyereza ku buzzi bw'emisango ku poliisi y'e Kawempe. Mbabazi yabadde atwala Namwanje mu kkeberero lya Gavumenti okuggyibwako endagabutonde kwe kulaba Owino ng'aliko edduuka we yabadde akettera ebyabadde bigenda mu maaso.
Mbabazi yagambye nti okuva Namwanje bwe yatwalayo okwemulugunya kwe ku poliisi babadde banoonya Owino.
Yagasseeko nti ono y'omu ku bakozesa amannya ne ofiisi za poliisi okubba abantu. Namwanje yategeezezza nti okuva lwe yavaayo n'assa okwemulugunya kwe eri eddwaaliro lya Kamic, ku mikutu gya Bukedde azze afuna okutiisibwatiisibwa n'amasimu nga bamulagira ave mu musango.
"Lumu Owino yannumba awaka, yajjira ku ppiki nnamba; UEW 782K n'ahhamba nti ye akola nga owaamawulire mu ofiisi ya Pulezidenti nti asindikiddwa abanoonyereza ku buzzi bw'emisango e Kawempe twogerezeganye ensonga zange ne dokita zireme kutuuka mu kkooti.
Bwe nalabye Owino ku poliisi, nasobodde okumujjukira ne mmulaga abaserikale ne bamukwata," Mbabazi bwe yagambye Mbabazi yakunyizza Owino nga bw'amubuuza gye yaggye olukusa okulumba Namwanje nga yeerimbise mu linnya lya poliisi, obwedda Owino addamu ebitakwatagana.
Owino yategeezezza nti ennamba ya Namwanje ey'essimu yagiggya mu mawulire ga Bukedde. "Nagenda ewuwe nga muzirakisa okulaba engeri y'okumukwasizaako fayiro y'omusango gwe ne Ssenkoomi. Simugambangako nti nkola ne poliisi y'e Kawempe, wabula namuwabula akwatagane ne ofiisi enoonyereza ku buzzi bw'emisango," Owino bwe yannyonnyodde.
POLIISI EYOGEDDE
Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, yategeezezza nti Owino si mukozi wa poliisi. Yagguddwaako ogw'okweyita ky'atali n'okutiisatiisa omuntu ku fayiro nnamba CRB:620/20.
Yagasseeko nti okunoonyereza okumanya ekitongole Owino ky'akolera kugenda mu maaso. Omukwate akuumirwa ku poliisi y'e Kawempe.
OMUSAJJA agambibwa okweyita
omuserikale wa poliisi
n'abba abantu ababeera batutte
emisango ku poliisi bamukutte
n'awoza nga bw'akola ne ofiisi
y'omukulembeze w'eggwanga .
Fred Owino omutuuze mu
Kakungulu zzooni e Kawempe
ye yakwatiddwa n'aggalirwa ku
poliisi y'e Kawempe.
Poliisi erudde ng'enoonya
Owino oluvannyuma lwa Rehema
Namwanje okwemulugunya
okumutiisatiisa ng'amulabula ave
mu musango gwe yali yatwala ku
poliisi y'e Kawempe ng'alumiriza
George Ssenkoomi, akulira eddwaaliro
lya Kamic okukyusa
omwana we bwe yali agenzeeyo
okumuzaalisa.
Owino yakwatiddwa Cherry
Mbabazi akulira okunoonyereza
ku buzzi bw'emisango ku poliisi
y'e Kawempe.
Mbabazi yabadde atwala Namwanje
mu kkeberero lya Gavumenti
okuggyibwako endagabutonde
kwe kulaba Owino ng'aliko
edduuka we yabadde akettera
ebyabadde bigenda mu maaso.
Mbabazi yagambye nti okuva
Namwanje bwe yatwalayo
okwemulugunya kwe ku poliisi
babadde banoonya Owino. Yagasseeko
nti ono y'omu ku bakozesa
amannya ne ofiisi za poliisi
okubba abantu.
Namwanje yategeezezza nti
okuva lwe yavaayo n'assa okwemulugunya
kwe eri eddwaaliro
lya Kamic, ku mikutu gya Bukedde
azze afuna okutiisibwatiisibwa
n'amasimu nga bamulagira
ave mu musango.
"Lumu Owino yannumba
awaka, yajjira ku ppiki nnamba;
UEW 782K n'ahhamba nti ye
akola nga owaamawulire mu
ofiisi ya Pulezidenti nti asindikiddwa
abanoonyereza ku
buzzi bw'emisango e Kawempe
twogerezeganye ensonga zange
ne dokita zireme kutuuka mu
kkooti.
Bwe nalabye Owino ku poliisi,
nasobodde okumujjukira ne
mmulaga abaserikale ne bamukwata,"
Mbabazi bwe yagambye
Mbabazi yakunyizza Owino
nga bw'amubuuza gye yaggye
olukusa okulumba Namwanje
nga yeerimbise mu linnya lya
poliisi, obwedda Owino addamu
ebitakwatagana.
Owino yategeezezza nti ennamba
ya Namwanje ey'essimu yagiggya
mu mawulire ga Bukedde.
"Nagenda ewuwe nga
muzirakisa okulaba engeri
y'okumukwasizaako fayiro
y'omusango gwe ne Ssenkoomi.
Simugambangako nti nkola ne
poliisi y'e Kawempe, wabula
namuwabula akwatagane ne
ofiisi enoonyereza ku buzzi
bw'emisango," Owino bwe yannyonnyodde.
POLIISI EYOGEDDE
Luke Owoyesigyire, amyuka
omwogezi wa poliisi mu Kampala
n'emiriraano, yategeezezza
nti Owino si mukozi wa poliisi.
Yagguddwaako ogw'okweyita
ky'atali n'okutiisatiisa omuntu
ku fayiro nnamba CRB:620/20.
Yagasseeko nti okunoonyereza
okumanya ekitongole Owino
ky'akolera kugenda mu maaso.
Omukwate akuumirwa ku poliisi
y'e Kawempe.