Ennaku zaaweddeko akawungeezi k'eggulo ku Mmande, kyokka abaserikale baakedde bukeezi okukwata emmotoka. Kino kyatabudde abatakisi abaasoose okuweebwa olukusa okukola wadde ng'emmotoka zaabwe zaabadde tezimalaayo bisaanyizo okuli okusooka okwewandiisa mu KCCA ne minisitule y'ebyentambula okufuna olukusa.
Emmotoka z'olukale bwe zakkiriziddwa nga June 4, abantu beeyiye mu ppaaka okugenda mu byalo nga tewali mmotoka zibatambuza.
Kino kyawalirizza Gavumenti okukkiriza takisi ne bbaasi okutambuza abantu abagenda mu byalo okumala ennaku ssatu (Lwamukaaga, Ssande ne Mmande).
Kyokka ku maliiri g'eggulo, enguudo eziyingira ekibuga zaakwatiridde abantu abalinda takisi nga tezirabikako. Kino kyavudde ku baserikale b'ebidduka "abaayiye ekiddo" nga bakwata buli takisi etemalaayo bisaanyizo okuli olukusa okutwala abantu (PSV) ne pamiti. Ttakisi entono ezaabadde n'ebisaanyizo zaayongezza ebisale.
Deborah Ndagire ow'e Bweyogerere yagambye nti ennaku ssatu abadde ajja mu kibuga n'okuddayo ng'asasaanya 4,000/-, wabula eggulo baamusabye 5,000/- n'asoberwa.
Yanenyezza Gavumenti nti buli lw'ekaluubiriza abattakisi, abantu abazikozesa be banyigirizibwa. Era wadde takisi zaabadde nnyingiko mu ppaaka ne ku nguudo, naye abasaabaze baasusse obungi ate nga zitikka abantu batono (abasaabaze musanvu). Ssentebe w'ekibiina kya takisi ekya KOTSA , Rashid Ssekindi yategeezezza nti embeera eno ekyayinza okutwala akaseera olwa Gavumenti okugaana okukitegeera nti nabo bantu.
"Emmotoka buli lwe zibeera entono, abatono abaasobodde okuwandiisa ezaabwe be bakola ne balinnyisa ebisale nga bamanyi nti mu buli ngeri zijja kufuna abasaabaze naddala abadduka kafiyu. Wano we yasabidde Gavumenti ekkirize takisi zonna zisooke zikole okumala emyezi mukaaga nga bwe bamaliriza emisoso gyonna.
Joseph Ssejjengo naye owattakisi, yeewuunyizza Gavumenti okukwata ttakisi emisolo ng'ate gye balina okugisasula waggale.