Thursday, June 25, 2020

Ebizuuse ku yaterese omulambo emyezi 8

Ebizuuse ku yaterese omulambo emyezi 8






Kyobe ateeberezebwa okuba nga yattibwa olw'ebyobugagga bya kitaawe Andereya Mayanja Nakiyanje okuli ne ssente obuwumbi busatu ezaali ku akawunta emu Bbanka n'ettaka eriwezaako yiika 320 e Bugiri mu bitundu by'e Ntebe.

Kyobe okuzuulibwa nti yafa, poliisi yamaze kukwata Agaati Nanteza 34, omutuuze w'e Buddo ne ddereeva we Rajab Kanzingirizi oluusi eyeeyita Zziwa oluvannyuma lw'aba ffamire okuloopa omusango gw'okuwambibwa kw'omuntu waabwe ku fayiro KMP/GEF 65/2020 ku poliisi e Katwe.

Oluvannyuma lw'okukunyizibwa poliisi, Kanzingirizi yategezezza poliisi nga Kyobe bwe yali yafa era ng'omulambo gwe guli mu ggwanika e Mulago.

Ebyazuuliddwa e Mulago, byawuniikiriza aba ffamire ne poliisi oluvannyuma lw'ok-ukizuula nti omulambo gwa Kyobe gubadde mu ggwanika okuva mu November w'omwaka oguwedde nga buli mwezi Nanteza abadde agusasulira 900,000/- buli mwezi okusobola okugukuba eddagala.

ABA FFAMIRE BOOGEDDE

Fred Walusimbi Ntege omu ku ba ffamire ya Kyobe yannyonnyodde Bukedde nti Kyobe y'abadde omwana yekka omugenzi Andereya Mayanja Nakiyanja ne Madarena Nakku gwe bazaala mu nsi. Oluvanyuma lwa kitaawe Mayanja okufa, Kyobe yali abeera ne nnyina mu Ndeeba mu zooni ya Central kubanga Kyobe yalina obukosefu ku bwongo.

Nnyina bwe yafa mu 2002, Kyobe yasigala alabirirwa kojjaawe John Walusimbi ne muliraanwa Kyeyune. Wabula nabo bwe baafa, mu 2006 John Kisitu azaala Nanteza (nga naye yafa) eyali ayita Kyobe mutabani yamutwala ku kyalo Mugereka mu Disitulikiti y'e Kyankwanzi n'atandika okuba naye eno gye baamutwalira mu ofiisi ekola ku nsonga z'abafu okusobola okulondoola eby'obugagga kitaawe bye yaleka.

Walusimbi ayongerako nti nga Kisitu tannafa mu 2017, Nanteza kigambibwa nti yakola olukujjukujju n'ajingirira ekiwandiiko ekyali kimuwa obuyinza okulabirira Kyobe era n'agenda mu ffamire ya Kyobe ne bakkiriziganya okugira ng'amu-abirira. Teyasooka kubeera naye era yasalawo okumuleka mu kyalo ng'amusabirako ssente z'obuyambi.

Oluvannyuma aba ffamire ya Kyobe baafuna amawulire nti Nanteza yali atunze ettaka lya Kyobe e Kayunga okuli n'amaduuka oluvanyuma lw'okukyusa ekyapa n'akizza mu mannya ge.

OLUKWE LW'OKUKYUSA EBYAPA BY'OMUFU 50

Walusimbi ayongera n'ategeeza nti ku ttaka yiika 320 kitaawe w'omugenzi bye yaleka, kiteeberezebwa nti waliwo ekitundu ekyatundibwa ssente eziri mu buwumbi busatu ne zissibwa mu bbanka wabula abantu abamu ne bazirya mu lukujjukujju.

Ettaka eddala kigambibwa nti lyasalibwamu ebyapa 50 era nga byonna bibadde mu mannya ga Kyobe oluvannyuma lw'okufuna obuyinza okuddukanya eby'obugagga bya kitaawe wabula Nanteza abadde agezaako okukyusa ebyapa bino abizze mu mannya ge.

Walusimbi era akikaaatiriza nti tebaba kuba aba ofiisi y'ebyettaka e Wakiso okukaluubiriza Nanteza nga baagala abaleetere Kyobe balyoke bakyuse ebyapa nga bwe yabadde ayagala, byandibadde byakyusibwa dda.

OMULAMBO MU GGWANIKA
Omugenzi Kyobe
Oluvannyuma lw'okutemezebwako abamu ku babadde bali ku lusegere lwa Nanteza, aba ffamire baatandise okussa Nanteza ku nninga abalage Kyobe waali wabula nga yeebulankanya n'atuuka n'okuggyako amasimu ge.
Kino kyabawaliriza okuloopa ku poliisi eyalondodde entambula ya ddereeva wa Nanteza ne babakwatira e Sumba Wakiso nga bali bonna. Nga baakakwatibwa, Nanteza yategeezezza nga Kyobe kalantiini bwe yamusanga e Sudan kyokka ne beebuuza kye yali agenze okukolayo kubanga abadde n'obulemu ku bwongo.
Oluvannyuma lw'okukunya ddereeva ebbanga, yategeezezza poliisi nga Kyobe bwe yafa ne bamutwala mu ggwanika e Mulago era omulambo gwazuuliddwa mu ggwanika ly'abayiga obusawo e Mulago erya Mulago School of Nursing. Oluvannyuma poliisi yazudde nti Kyobe teyafiira mu ddwaaliro lino wabula yatwalibwayo nga nga November 7, omwaka oguwedde ng'amaze okufa.
Era kyazuuliddwa nti Nanteza abadde asasula ssente 900,000 buli mwezi okusobola okukuuma omulambo gwa Kyobe guleme kwonooneka era nti abasawo yabategeeza nti omufu oyo baali balindirira abaana be abali obweru w'eggwanga basobole okumuziika.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Luke Oweyesigire yategeezezza nti ensonga zino ziri mu kkooti era nga poliisi erindirira ekinaava mu kkooti ku kusalawo eky'okula ku mufu.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts