BYA MARGRET ZALWANGO
Nakajjigo 25 muwala wa John Kateregga ne Christine Namagembe abatuuze mu Kasule Zooni Nsambya e Kansanga ng'abadde abeera mu ssaza lya Corolado mu America ng'abadde yagenda kusoma ddaala lya "masters".
Kitaawe w'omugenzi, Kateregga yategezezza nti yasemba okuwuliza muwala we nga June 12, kyokka yaddamu okumukubira essimu nga tagikwata era ekyaddiridde kufuna mawulire g'okufa kwa muwala nti yabadde akubiddwa ggeeti.
Nakajjigo abadde akola mirimu gya bwannakyewa ng'alwanirira eddembe ly'abaana abawala naddala abatuusibwako obuliisa maanyi saako abo abayita mu kutulugunyizibwa okwamaanyi era emirimu gye abadde asinga kugikolera mu bizinga ssaako mu nkambi z'abundabunda.
Ono y'omu ku baawangula empaka z'okukulaakulanya abakozi ezitegekebwa Vision Group eza "Pakasa" omwaka oguwedde ng'abadde alina pulogulaamu ekyusa obulamu bw'abaana abawala n'abavubuka ku Urban Tv eyitibwa "who can do it as ESSIE" ebadde ebeerayo buli lwa Ssande.
Nakajjigo yafudde nga June 14 mu kibuga Altar gye yabadde agenze ne banne babiri okugula ebintu. Baaabadde baakafuluma ssemaduuka soma 'Mall' omuyaga ogwamaanyi we gwajjidde ne gukuba ggeeti y'ekifo olwo n'egwiira mmotoka mwebabadde era Nakajjigo yafiiriddewo n'emukwano gwe omu ate omulala owookusatu gwe baabadde naye yatwaliddwa mu ddwaliro ng'ali mu mbeera mbi.
Omulambo gwa Nakajjigo gwatwaliddwa omuyaga kyokka oluvannyuma gwazuuliddwa wabula mu kiseera kino aba famire baategeezezza nti akuumirwa mu ddwaliro lya Deniva mu America kyokka nga bakyasobeddwa engeri y'okumukomyawo mu Uganda aziikibwe.
Ssentebe w'ekyalo Kasule Zooni omugezi gy'azaalibwa Abas Kalema yategeezezza nti omwana ono abadde afubye okulaga ensi nti omuntu azaaliddwa mu bifo by'enzigota ebimanyiddwa nga "ghetto" basobola okubaako kyebakola okukyusa ensi.
Balajaanidde gavumenti okubayambako okulaba ng'omubiri gwa Nakajjigo gukomezebwawo mu Uganda aziikibwe..