Tuesday, June 30, 2020

Musaayimuto wa SLAU yeesunga 'Super'

Musaayimuto wa SLAU yeesunga 'Super'





Kasule 21, ali mu mwaka ogwokubiri ng'akola diguli mu Industrial Arts and Design, yaweereddwa endagaano ya myaka esatu.

Kasule agamba nti okufuna essimu okuva ew'omugagga wa ttiimu, Musa Ssebulime amanyiddwa nga ‘Musa Atagenda', yabadde takikkiriza kuba okuzannyirako mu ‘Super' kye kimu ku birooto bye.

"Ng'enda kuggyayo amaanyi gange gonna okulaba nga nsitula kiraabu eno ekole bulungi sizoni ejja," Kasule bwe yategeezezza.

Sizoni ewedde Wakiso yamalidde mu kifo kya 10 n'obubonero 30 mu mipiira 25.

Kasule azannyiddeko All stars FC, Mbikko United, Athletical Club e Ntinda, Nansana United, Kampala Junior Club (KJT), ssaako ez'Amasaza okuli; Buvuma, Butambala, Kyaddondo ne Buddu.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts