Stella Nyanzi yagasseeko nti bwe bawangula, olwo Dr. Besigye abeera asobola okuweebwa Obwakatikkiro bwa Uganda. Kino kyasaanudde abamu ku bawagizi ba Besigye omuli n'abakulembeze omuli ne Kkansala mu KCCA Doreen Nyanjura abaagugumbudde Stella Nyanzi nga bagamba nti Besigye talina kifo ky'ayagala mu gavumenti yonna, wabula ayagala kukyusa bukulembeze bwa Uganda.
Nyanjura nga y'omu ku baminisita Erias Lukwago be yalonda okuddukanya Kampala yagambye nti singa Besigye yali ayagala kubeera Katikkiro wa Uganda mu gavumenti yandibadde akituukako ne mu gavumenti eno yennyini singa abeera asazeewo okwegatta ku NRM, naye nti ekyo ssi ky'ayagala wabula ayagala kununula bantu.
Abawagizi ba FDC abamu omwabadde n'omukubi w'amasimu ku leediyo Makolo Kavuma baalumbye Stella Nyanzi n'aba FDC abaasalawo okuwagira People Power nti bavudde ku biruubirirwa by'ekibiina eby'okukyusa eggwanga litambuzibwe mu ngeri eyeegombesa.
Kyokka Stella Nyanzi naye yakozesezza omukutu gwe ogwa Facebook okwanukula abaabadde bamulumba n'agamba nti aludde ng'asaba Besigye akkirize asimbe emabega wa Hon. Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) kubanga mu kiseera kino y'alina obuwagizi obw'amaanyi obusobola okutwala obukulembeze bw'eggwanga.
Okukoonagana kuno kukomezzaawo mu ddiiro eky'omuntu ab'oludda oluvuganya gavumenti gwe banaasimbawo okuvuganya ku Bwapulezidenti era ng'okusika omuguwa okw'amaanyi kuli wakati wa Besigye ne Bobi Wine.
Stella Nyanzi yagambye nti Maj. Gen. Mugisha Muntu naye kyetaagisa asimbe emabega wa Bobi Wine era nti ono asobola okubeera omumyuka wa Pulezidenti omulungi ng'amyuka Bobi Wine singa baba bawangudde.
Wadde waliwo abaabadde baagala Stella Nyanzi yeetonde olw'okuwa ebirowoozo bye baalabye ng'ebitakwatagana na bintu FDC by'ekkiririzaamu, wabula Nyanzi yabagambye nti ye buli ky'ayogera amala kukinoonyerezaako era okussaawo okusaba kuno yakikoze mu mutima mulungi ng'akyesigamya ku kunoonyereza kwe yakoze okwalaze nti Bobi Wine kati ali waggulu mu buwagizi wabula yeetaaga bannabyabufuzi abalina obumanyirivu bamuyambeko mu kunoonya obuwagizi ate n'okuggumiza gavumenti nga bassaamu enkyukakyuka zonna eziruubirirwa, singa baba bawangudde.
Mu bawagizi ba FDC abaasooka okulangirira nga bwe beegasse ku People Power kwe kuli n'omubaka omukazi owa Kampala Nabilah Naggayi Ssempala era naye aba FDC baamugugumbula ne bamwogerako nga nnakigwanyizi.
Nyanzi yagambye nti aludde ng'ayogera ne Bisigye ku nsonga eno era asuubira nti Besigye ajja kulaba amazima nga 2021 tannatuuka yeegatte ku Bobi Wine era Nyanzi yagambye nti bwe banaakikola bwe batyo ng'obuyinza bubali mu ttaano.
Stella Nyanzi yagambye nti akyali wa FDC kyokka akolagana bulungi n'aba People Power kubanga kino kisinde kya nkyukakyuka.
Kyokka omwogezi wa People Power Joel Ssenyonyi yagambye nti amaloboozi ng'aga Dr. Stella Nyanzi geetaagisa mu kiseera kino mu kweteekateeka nga boolekera 2021 wabeewo okwegatta kw'oludda oluvuganya gavumenti.
Flavia Kalule ow'abakyala mu People Power yagambye nti Dr. Stella Nyanzi ky'ayogera ky'ekyo ekiri mu bantu era buli gye bayita babasaba okumatiza Besigye, Muntu n'abantu abalala okwegatta ku Bobi Wine bawangule NRM.
Source