OMUKAZI akkakkanye ku mwana wa Mujja we n'amukuba akakumbi ku mutwe n'amutta.
Entiisa eno abadde Kinoni mu Town Council ye Lwengo omukazi amanyiddwa Nakanwagi Sophia bw'akakanye ku mwana we mujja we Abdul Shakulu ow'emyaka 10 n'amukuba akakumbi ku mutwe akamuttiddewo omulambo n'agusuula mu kabuyonjo ng'amulanga okulya ekijjo kye.
Bba w'omukyala ono Muhammad Mukasa amanyiddwa nga muzungu ategeezezza nti omukazi we bulijjo abadde yamulimba nga omwana bwe yabula nga amutumye ku luzzi era abadde yamulimba nti baana banne bamugamba nti waliwo omusajja eyali akutte ejjambiya eyamutwala.
Wabula kino kiwaliriza poliisi okukwata bba w'omukazi naye n'atwalibwa ku poliisi mu kiseera kino bw'ombi babiri bakumibwa ku poliisi ye Kinoni gye babaabuulizza akamu n'akataano okukkakkana ng'omukazi ayogedde ekikola kye yakola ku mwana nti yeyamutta n'amusuula mu toilet.