Wednesday, June 17, 2020

Princess Amirah avudde mu by'okwekubagiza

Princess Amirah avudde mu by'okwekubagiza






Princess Amirah eyakuyimbira; Sibookya, Ndi mu laavu n'endala alabye embeera ya Corona ekyalemeddeko nga tewali na ssuubi nti ebivvulu biyinza okuggulwawo mu bwangu abayimbi okuddamu okukola, asazeewo amaanyi kugazza mu kirabo kye eky'emmere ekisangibwa e Kabuusu okumpi n'ebbaala ya Monalisa kati w'akolera.

Amiirah gwe twaguddeko nga abyekwatiddemu agamba akooye okwekubagiza ng'abayimbi abalala abalemedde awaka nga balinda gavumenti lw'erirangirira nti ebivvulu bizzeemu okukola.

Ekifo kino yakiggulawo ku ntandikwa y'omwaka guno era n'akiteekamu abakozi kyokka corona bwe yayingirawo omulimu gwe ogw'okuyimba ne guyimirira ate nga ne ssente z'okusasula abakozi tazirina kwe kusalawo okwekwatiramu, Yasazeewo okweggyamu embeera ya bboosi abyekwatiremu ng'enjogera y'ennaku zino bweri.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts