Ravita yafuna obuvune mu February w'omwaka guno KCCA bwe yali ekubwa URA FC 3-1 mu Startimes Uganda Premier League ku kisaawe e Ndejje era abadde n'obuvune buno okutuusa ku Monday 8, 2020 bwe yalongoseddwa mu ddwaliro lya CoRSU e Kisubi.
Moses Magero omwogezi wa KCCA FC agamba nti Revita yafuna obuvune obumanyiddwa nga Anterior Cruciate Ligament (ACL) nga waakumala wakati w'emyezi 7-12.
"Omuzannyi waffe yalongoseddwa bulungi era abasawo ne bamusiibula nga kati ajjanjabirwa waka ate oluvannyuma lw'ebbanga eggere ajja kuba azzibwayo mu ddwaliro ly'amagumba e Kisubi okwekebejjebwa," Magero bwe yakakasizza.
Revita yeegatta ku KCCA FC mu August w'omwaka oguwedde ng'ava mu Express FC ng'eno ebadde sizoni ye yaakubiri.
Source