Monday, June 22, 2020

URA efiiriddwa obuwumbi ensimbi obuwumbi 3,538

URA efiiriddwa obuwumbi ensimbi obuwumbi 3,538






Bino byayogeddwa akulira ekitongole kya URA John Musinguzi bwe yabadde alabiseeko mu kakiiko ka Palamenti akalondoola eby'enfuna (National Economy) akakulirwa omubaka w'e Nakaseke North Syda Bbumba.

Emisolo gy'asinze kugwa mu myezi ebiri egiyise okuli ogw'okuna n'ogwokutaano. Musinguzi yagambye nti omusolo gwonna awamu ogwasoloozebwa mu gw'okuna gwagwa ebitundu 27.52% ate mu gw'okutaano embeera n'eyongera okukaluba bwe gwagwa ebitundu 32.10% bwogerageranya n'omwaka gw'ebyensimbi oguwedde.

Mu 2018/19 mu gw'okuna baasolooza obuwumbi 1,293.71 ate mu guno baasoloozezza obuwumbi 937.64. Ate mu gw'okutaano omwaka guno baasoloozezza obuwumbi 881.94 ate mu mwaka gw'ebyensimbi 2018/19 baasolooza obuwumbi 1,298.87.

Okugwa kuno Musinguzi yakutadde ku muggalo ogwateekebwawo okutangira okusaasaana kw'ekirwadde kya Covid 19 ogwakosa emirimu gyaba neekolera gyange abataasobola kusasula musolo ogujjibwa ku misaala gy'abakozi (PAYE), amawoteeri okuggalwa, n'ebyobulambuzi okuyimirira.

Musinguzi yayongeddeko nti eby'amaguzi ebijjibwa e bweru w'eggwanga nabyo byakendeera nnyo okuva mu gw'okubiri omwaka guno, oluvannyuma lwa China Uganda gy'esinga okusuubula okugenda mu muggalo.

Okugwa okw'amaanyi kwasinga kweyolekera ku by'amaguzi omuli Eby'amasanyalaze, engano, n'ebikozesebwa mu kukola eddagala.

Musinguzi yalaze bye bagenda okukola okusobola okudda engulu nga mwe muli okukozesa enkola za tekinologiya ow'omulembe okwongera obwerufu n'okukendeeza ku nsimbi ezigwera ku bakozi, okutumbula obwerufu, okubangula abakozi mu bya tekinologiya ne kompyuta, okusomesa abantu ku mugaso oguli mu kuwa emisolo n'ebirala.

ABABAKA BALINA BYE BASABYE

Ababaka abatuula ku kakiiko kano basabye aba URA okugaziya ebintu bye bajjako omusolo baleme kwesiba ku makampuni manene gokka, okutereeza emikutu gyayo okusasulirwa kyanguyize abantu abasasula omusolo baleme kukandaalirira.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts