Ttiimu eno mwe muzannyira kapiteeni wa Cranes, Denis Onyango Bayo atadde abakungu ba Vipers mu kattu k'okwanguwa okufuna omusika we.
Steven Mukwala gwe baasindika ku looni mu Maroons, kigambibwa nti anaatera okusonjolwa KCCA FC. Mukwala ye yasinga okuteeba ggoolo ennyingi (13) mu ‘Super' sizoni ewedde.
Bayo, eyeegatta ku Vipers ku ntandikwa ya sizoni eno ng'ava mu Buildcon ey'e Zambia, yakutte kyakubiri ne ggoolo 12.
Ensonda mu Vipers zigamba nti Sundowns ne Azam FC ey'e Tanzania zimutokota kyokka nga ddiiru ya Sundowns y'eneetera okusonjoka.
Fred Kajoba, atendeka Vipers, yakkirizza nti Bayo, ttiimu nnyingi zimwagala nga ye (KajobaO ayigga muteebi mulala abamazaako mu liigi ne CAF Champions League.
"Okukola obulungi mu mpaka zonna olina okuba n'omuteebi gw'osuubira okukukubira ggoolo obudde bwonna. Nnina omulimu munene okufuna omuteebi alinga Bayo singa anaatuvaako," Kajoba bwe yategeezezza.
Okujja kwa Bayo mu Vipers kwawaliriza abakungu baayo okusindiikiriza Mukwala mu Maroons ku looni, kyokka kati y'omu ku be batunuulidde okumusikira.
Kajoba agamba nti Mukwala muzannyi mulungi era akola butaweera okulaba nga bamuwa endagaano empya, kuba yaweddeko. Wabula ensonda ziraga nti mu kaseera kano Mukwala ali mu nteeseganya ne KCCA era obudde bwonna yandigyegattako kuba nayo yeetaaga omuteebi.