Wednesday, July 1, 2020

Bryan White mulwadde muyi: Ayagala kusisinkana Museveni

Bryan White mulwadde muyi: Ayagala kusisinkana Museveni





Bryan White mu kiseera kino asizza ku byuma amaze wiiki biri mu ddwaaliro ly'e Nakasero kyokka embeera ye ekyagaanye okutereera ekitabudde abooluganda ne mikwano gye.

Bano kati balindiridde alipoota y'abasawo mu Bungereza eyatwaliddwa omusaayi n'ebiralala ebyamuggyiddwako okwongera okwekebeja n'okuzuula ekituufu ekimuluma okusalawo ekiddako.

Bryan akaaba obulumi obw'amaanyi mu lubuto amaze ebbanga ng'atawaanyizibwa obulwadde bw'amabwa g'omu lubuto (Ulcers) kyokka abadde atereera n'addamu n'akola. 

 

Ono gye buvuddeko yatwaliddwa mu ddwaaliro ly'e Nakasero ng'ataawa era embeera ye ekyagaanye okutereera. Ayogera kitono, talya okuggyako okunywa n'eby'okulya bye bayisa mu bupiira.

Omuyambi we Isaac Katende yategeezezza nti okuva Bryan lwe yatwalibwa mu ddwaaliro abasawo bamwekebejjezza kyokka bakyalemeddwa okuzuula ekituufu ekimuluma era kati balindiridde kinaava Bungereza ewatwaliddwa omusaayi n'ebirala ebyamuggyiddwako.

Wiiki ewedde abasirikale okuva ku palamenti baawaliriziddwa okugenda e Nakasero okukakasa oba ddala Bryan mulwadde oluvannyuma lw'okulemererwa okweyanjula mu kakiiko akakola ku nsonga z'eddembe ly'obuntu akaamuyita yennyonnyoleko ku nsonga z'abawala abaali bakozi be abamulumiriza okubatulugunya n'okubakaka omukwano.

Bano looya wa Bryan yabategeezezza ng'omuntu we bw'ali omulwadde ne basalawo okusindika boofiisa baabwe okukakasa.

 

Bryan ayagala kusisinkana Pulezidenti Museveni

Katende era yategezezza nti wadde Byan muyi naye ebimu ku bintu by'ayagala era ennaku zino by'ayogerako mulimu okwagala kusisinkana Pulezidenti Museveni okubaako by'amutegezza.

Yagambye nti Bryan amaze ebbanga ng'asaba okusisinkana Pulezidenti kyokka ng'alemesebwa b'ayita ba mafiya.

Ono agamba nti ng'oggyeeko ssente z'ayagala bamusasule olw'omulimu gwe yakola ogw'okubiriza abavubuka okwekulaakulaanya okweggya mu bwavu era mu nteekateeka eno yateekamu ssente ze nnyingi, alina ensonga eziwerako z'ayagala okutegeeza omukulembeze w'eggwanga.


Source
Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts