Friday, July 3, 2020

CAO wa Wakiso atabaganyizza RDC Kirabira ne Matia Bwanika

CAO wa Wakiso atabaganyizza RDC Kirabira ne Matia Bwanika






Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira ebitongole eby'enjawulo ku disitulikiti e Wakiso abaabadde tebasukka 30.

Essaawa y'okuggulawo amazina yatandise nga CAO Lokuda ye yagguddewo ng'azina n'abamu ku beetabye ku kabaga wakati mu ssanyu okuva mu baabaddewo.

Wabula enduulu ey'amaanyi yasaanikidde ekifo, ssentebe Bwanika bwe yazze n'akwata Rdc Kirabira ku mukono n'amuzza mu ddiiro ne batandika okwenyiga omunyigo abalala ne bava ne ku mazina ne badda mu kubatunuulira.

Embeera eno yeyolekera mu lukiiko olwatuula ku munisipaali e Nansana nga November 26, 2019 omwali okuteeseza Nansana by'erina okussaako essira.

Lokuda abadde CAO wa Wakiso ng'ayogera ku kabaka k'okumusiibula

Kirabira ye yasooka okukwata omuzindaalo n'ategeeza nti ekiremeseza enkulaakulana mu Wakiso be bakozi ba Gavumenti abeefudde ekitalo okubulankanya ssente y'omuwi w'omusolo. Bwanika yamwanukulu ng'agamba nti oba amanyi ababbi ku disitulikiti lwaki tabakwata nga gwe mulimu gwe.

Lokuda asiibuuddwa

Lokuda yawebwa obwa CAO bwa Wakiso mu 2016 mw'aweererezza emyaka 4.

Ono yasikiziddwa abadde CAO wa Luweero Godfrey Kuruhira Akiiki.


Source
Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts