Thursday, July 30, 2020

Dayirekita wa KCCA omuggya alayiziddwa Lukwago n'amulabula

Dayirekita wa KCCA omuggya alayiziddwa Lukwago n'amulabula





Abadde akola nga dayirekita Ying Andrew Kitaka okumala emyezi 20 amutegekedde omukolo ku City Hall kw'amukwasisizza obuyinza n'ebiwandiiko ebyenjawulo era akulira abakozi mu ggwanga, Dr John Mitala n'amulayiza n'okumukuutira nti ateekwa okukuuma ebyama n'ebyobugagga bya Gavumenti.

Ensonga;

  1. Ategeezezza nti ayagala KCCA ebeere ekyokulabirako eri ebitongole byonna mu kugenda mu maaso n'okukolera emirimu mu mateeka.
  2. Agenda kukulembeza nkulaakulana y'ekibuga ey'omugundu ate nga etambulira ku misinde gya kizungirizi.
  3. Agenda kukola na buli muntu okusitula ekibuga n;okukikyuusa kubanga kya bonna wabula tagenda kukola yekka.
  4. Agenda kwewala abantu abatayagala nkulaakulana ya kibuga kubanga Kampala gwemumuli gw'eggwanga.
  5. Azze kuweereza bantu bonna [ bannakampala] n'amawanga gonna 56 agakola eggwanga kubanga ekibuga kyabonna tayagala kusosola muntu yenna.
  6. Agenda kutumbula n'okunyikiza emiramwa gyonna egiragirwa abakozi ba gavumenti naddala obwenkanya , okukola ennyo, okuba omugonvu eri bannakampala n'okugoberera amateeka ga Gavumenti.
  7. Taganda kuzanyisa munnakampala yenna kaabe mukozi wa KCCA agezaako okwonoona ebintu bya Gavumenti ebikoleddwa naddala ababba ebitaala , ebisaanikira ku binnya by'amazzi kyokka agenda kwaniriza oyo ayagaliza KCCA ebirungi ebigitwaala mu maaso.
Loodi Meeya Lukwago ne Minisita Among

Yeebazizza obukulembeze bwa KCCA obuliwo okutandikira ku bwa loodi meeya Erias Lukwago, abadde akola nga dayirekita Andrew Kitaka ne Jennifer Musisi eyagenda nti tazze kutta bye bakoze wabula okwongera okubizimbirako ekibuga kikulaakulane.

Abalala abakwasiddwa ofiisi kuliko omumyuuka wa dayirekita Ying. David Ssali Luyimbazi n'aKOLA KU NSONGA Z'ABAKOZI  Grace Akullo. Ababadde mu bifo bino okuli Kitaka azeeyo okukulira eby'enguudo ate Samuel Sserunkuuma azeeyo okukulira eggwanika.

LOODI MEEYA.

Lukwago yamwanirizza mu ssanyu kyokka naamutegeeza nti ekiseera watuukidde nga ekitongole kijjuddemu okusomoozebwa kunene naddala ku ludda lwa mabanja kubanga bangi abakibanja nga naye Lukwaago mwaali.

Dorothy Kiyimba Kisaka

Yamutegeezezza nti abakozi bakibanja ssente ezisoba mu buwumbi 10 , ye Lukwaago akibanja ssente ezisoba mu bukadde 800 ne bannakampala abalala.

Yamulaze nti asanyukidde ensonga omusanvu zaayanjudde kyokka n'amugamba nti alwane nnyo okusaba Gavumenti ssente ez'ongere KCCA kubanga ebyetaaga okukola bingi.

Lukwago yamusongedde ku myaala essatu mu Kampala okuli ogwa Nalukolongo, Lubigi ne Nakamiro nti baayisa dda ssente zaagyo mu mbalirira kyokka tewali ssente .

Yamugambye nti ekitongole kyazeemu KCCA kirina loodi meeya akifuga era naye alina olukiiko lwabakulembeze baagambye nti asaana akolagane bulungi nabo kubanga bonna bakolerera bulungi bwa bannakampala.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts